Kasalabecca

Da Agent agambye tajja kufa nga tavuze mamotoka: Yeeyiyeemu kapyata

Da Agent yeeyiyeemu enzirusi kapyata.

Da Agent agambye tajja kufa nga tavuze mamotoka: Yeeyiyeemu kapyata
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

Ivan Wabwire amanyidwa ennyo nga Da Agent ebitaala byamutadde.

Ono Oluyimba lwa ‘daddy’ oyinza okugamba lwazze n’ebisima anti kati naye yeeyiyemu emmotoka ekika kya ‘Mazda’

 

Da agent ebbanga abadde amaze ddene ng’akuuta enfudu kw’ossa n’okusaba banne bamutwalengako ku bivvulu ne yintaaviyu ku ttivvi.

 

Bwe yayawukana ne maneja we okuva mu kibiina kya ‘Savaam’ ebintu byasooka ne bimutagalako era emabegako awo olugambo lwayita nga bw’apepeeya ne Don Zella okugezaako okugatta obulamu.

 

Kati yatandika ekibiina ekikye ekimanyiddwa nga ‘Tokopa’ Force mwateredde ennyimba nga Baliwa, Nju ku nju, Ngalo Ngalo n’endala

Tags:
Kamotoka
Da agent