Kasalabecca

Endongo ya Ntale erarudde abadigize ku Skyz e Naguru

OMUYIMBI Irene Ntale, akubye endongo ye layivu ku siteegi, esitudde abadigize mu ntebe ne batandika okunyeenyaamu ng’eno bwe bayimba naye ennyimba ze, ku woteeri ya Skyz e Naguru.

Endongo ya Ntale erarudde abadigize ku Skyz e Naguru
By: Patrick Kibirango, Journalist @New Vision

OMUYIMBI Irene Ntale, akubye endongo ye layivu ku siteegi, esitudde abadigize mu ntebe ne batandika okunyeenyaamu ng’eno bwe bayimba naye ennyimba ze, ku woteeri ya Skyz e Naguru.

Ntale Ng'ayimba ku Skyz e Nagguru

Ntale Ng'ayimba ku Skyz e Nagguru

Ntale, abadde amaze akabanga nga talabika ku siteegi, yatadde abadigize mu muudu n’abawa essanyu bwe yalinnye ku siteegi n’abakubira ennyimba ze okwabadde Mpa nkuwe, Nkubuukinze, Gwe aliko, eno ye ssaawa n’endala.

Omuyimbi yataddewo embeera y’abadigize okubeera ku ye ng’obwedda ayimba nabo. Obwedda agira n’asirisaamu okuyimba abadigize ne bagattawo vvaasi wamma ne kinyuma.

Abamu ku badigize abaabaddeyo

Abamu ku badigize abaabaddeyo

Embeera gye yagenze ng’obudde bukula abantu endongo yayongedde okubakwata ku jjoba ne basituka mu ntebe zaabwe mwe baabadde beemiisiza emyenge egy’ebbeeyi n’ebyokulya olwo ne batandika okunyeenyaamu wadde ng’abalala baagazinidde mu ntebe mwe babadde.

Nga Ntale tannaba kubaka kazindaalo, aba D-Maestroz Band, baasoosewo ne bakuba abadigize endongo lukoba ku lukoba nabo abaabacamudde.

Abaabadde ku Skyz nga basaanuuse olw'omuziki.

Abaabadde ku Skyz nga basaanuuse olw'omuziki.

Akawungezi kaabadde kasufu era abidigize abaasinzeeko baabadde baana bawala abanyirivu nga baabadde bambadde obuvaazi obusalawo.

Tags:
Irene Ntale
Ndongo
Badigize
Irene
Ntale