Kasalabecca

Abagagga b’omu Kikuubo baliisizza amaaso

ABAGAGGA b’omu Kikuubo abeegattira mu kibiina kya Tussakimu Club, baategese omukolo ku mazzi ne baliisa ne ku maaso.

Abagagga b’omu Kikuubo baliisizza amaaso
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABAGAGGA b’omu Kikuubo abeegattira mu kibiina kya Tussakimu Club, baategese omukolo ku mazzi ne baliisa ne ku maaso.

Baano baabadde ne ffamire zaabwe era abaabadde bagenze ku lwabwe, omukolo baagumazeeko ng’amaaso gabali ku badigize abaabadde ku Kaazi Beach eyakazimbibwa e Busaabala nga banyumirwa obulamu ku bwato ate ng’abalala abazannyira mu musenyu ng’empewo bwe zibafuuwako.

Abamu ku bagagga ba Tussakimu mu Kikuubo okuli; Epmark Kagolo ne Hajji Nurman n’abalala beebazizza munnaabwe Omar Ssekamate olw’okukola akafo kano akalimu empewo

Tags: