KKWAAYA ya Gospel Elite Crescendo International efulumizza oluyimba olupya ne yeewaana.
Eyimba ennyimba z’eddiini ku mikolo ne ku bikujjuko by’amasinzizo egamba nti oluyimba luno lw’etuumye, ‘Olwa leero mbaga’ lukulaga omukwano.
Yesu gw’alina eri abantu be awatali kusosola era ne beewaana nti ne vidiyo gye bakoze, kiraasi kalaso.
Batambudde mu nsi okuli; Dubai, Kenya, Rwanda n’amawanga amalala nga bawangula n’engule.