Kasalabecca

Apass afiiriddwa embwa ye n'ayoza ku mmunye!

Alexander Bagonza amanyiddwa nga Apass afiiridwa embwa ye gy’abadde amaze nayo emyaka egikunukkiriza mu 10.

Apass afiiriddwa embwa ye n'ayoza ku mmunye!
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

Apass afiiriddwa embwa ye n’ayoza ku mmunye. Alexander Bagonza amanyiddwa nga Apass afiiridwa embwa ye gy’abadde amaze nayo emyaka egikunukkiriza mu 10.

 

Omuyimbi ono agamba nti embwa eno yajigula ku mutegesi w’ebivvulu amanyiddwa nga Steve Jean ku obukadde 2 obw’ekibanjampola.

Apass bwe yalabise ku layivu ng'anyoleddwa

Apass bwe yalabise ku layivu ng'anyoleddwa

‘Nnali ngenze ku ofiisi za Steve twogere ku kivvulu kyange nensangawo embwa elabika obulungi wabula salina ssente zimala okugigula’’

 

‘Nateesa ne Steve ekivvulu ky’agenda okutegeka bwe kikwatayo mwe mujja okuva ssente ezinaamusasula era ne njitwala awaka’’ Apass bwe yategeezezza.

 

Kigambibwa omuyimbi ono bwe yakomyewo awaka yasanze embwa ye teriiwo ekintu ekyamutengudde emmeeme anti eno ebadde etera okudduka ku ggeeti nga emulabye n’emwaniriza.

 

Mbu yajinoonyezza buli wamu okutuusa bwe yajisanze mu kayumba kaayo nga gajiwedde era nga etandise n’okuwunya ekintu ekyamuwaririzza okuyungula ezziga.

 

Ann Taylor, Frank Gashumba nabo baafiirwako embwa zaabwe gye buvuddeko era ne bazikolera n’ennyimbe olw’okulumwa.

 

 

Tags:
Apass
Mbwa
Maziga
Kukaaba
Mmunye