Abakulira Vision group basisinkanye abategesi b'ebivvulu mu ggwanga ne bawayamu ku ngeri gye bayinza okulongoosa empeereza gye bali wakati mu mbeera y'ebyenfuna eyekanamye.

Abategesi b'ebivvulu nga bali mu lukiiko n'abakulira emikutu gya Vision Group
Ono yeetondedde abategesi b'ebivvulu kwebyo ebibadde bitatambula bulungi ne yeeyama okuteereza era n'abasaba okubatuukirira nga bafunye okwemulugunya basobole okuyambibwa.

Abtex ng'annyonnyola ebibasoomooza ng'abategesi b'ebivvulu
Bbo ba polomota nga bakulembeddwamu Juma Balunywa ne Luba olwa Luba Events basiimye vision group olw'ensinkano eno era ne beeyama okukunga bannaabwe okwettanira emikutu gya vision group okusobola okulanga ebivvulu byabwe naddala mu kiseera kino eky'ennaku enkulu.

Abategesi b'ebivvulu nga bali mu lukiiko n'abakulira emikutu gya Vision Group
Ye Pulezidenti waabewe Abbey Musinguzi amanyiddwa nga Abetex promotions agambye nti yadde wabaddewo okusomoozebwa okutali kumu naye vision Group naddala emikutu gya Bukedde gikyakwata kisooka mukutumbula ebitone mu ggwanga.