Kasalabecca

Mesach Ssemakula atutte amakula

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza abayimbi okusitula omutindo, gubayembe okufuuka abakugu mu mulimu gwabwe.

Ssemakula ng’akwasa Katikkiro Ssekokko
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza abayimbi okusitula omutindo, gubayembe okufuuka abakugu mu mulimu gwabwe.

Katikkiro yabadde asisinkanye omuyimbi Mesach Ssemakula n’ab’enju ya Ssenkoole e Buwaate mu Kyadondo, abaakiise embuga okuleeta amakula ga Kabaka n’okwogera ku nteekateeka z’ekivvulu, Ssemakula ky’ategese ng’aweza emyaka 50 egy’obulamu ate nga bw’asanyusa abantu.

Ensisinkano eno, yabadde ku Bulange e Mmengo. Mayiga yasabye abavubuka okukola emirimu mu bugumiikiriza kubanga tebasobola kugaggawala mangu era oluvannyuma, yakoowodde abantu okugenda mu bungi okuwagira Messach Ssemakula mu kivvulu kye. Ye Ssemakula yategeezezza nti yasazeewo ajaguze amazaalibwa ge n’abantu bonna ng’abayiwamu ekivvulu. Mu kukiika embuga, yawerekeddwaako bayimbi banne, abagagga abeddira Olugave ne ffamire ye era n’atwala amakula g’ente n’ebirabo ebirala okwabadde ne Ssekokko

Tags: