DR. Tee ng’amannya amatuufu ye Travis Kazibwe, anoonya bawala n’abalenzi ab’ebitone abasomese okuyimba, okuzina n’ebyakatemba ebirala.
Kazibwe owa sityudiyo ya Song factory mw’akwatidde ennyimba z’abayimbi ezisoba mu 100 nga ze zimu ku zisinga n’amaanyi mu ggwanga, agenda kutandika December okutambula mu disitulikiti ez’enjawulo ng’atandikira Kampala.
Ab’ebitone b’anoonya, DR. Tee agenda kusooka kubateeka mu nnyimba ze eziri ku lutambi lwe yatuumye ‘Tubaale’, bazannye mu vidiyo abakwatire n’ennyimba ezaabwe. Asuubira nti ng’oggyeeko okukwatira abaana abo ennyimba mu situdiyo Gavumenti gye yakolera abayimbi abato ng’eyita mu kibiina kya Tomorrow’s Star Foundation e Wakaliga, asuubira n’okubakolera konsati mu August w’omwaka ogujja.