Kasalabecca

Bannabitone bakubye ebituli mu kitongole ekibavunaanyizibwako

BANNABITONE boogeredde Oluganda mu kakiiko ka Palamenti nga baagala ensonga zaabwe zituuke bulungi eri ekitongole ekibavunaanyizibwako ekya Uganda National Cultural Centre kye bagamba nti tekibayambye.

Abtex bwe yabadde ayogera
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

BANNABITONE boogeredde Oluganda mu kakiiko ka Palamenti nga baagala ensonga zaabwe zituuke bulungi eri ekitongole ekibavunaanyizibwako ekya Uganda National Cultural Centre kye bagamba nti tekibayambye.
Baabadde mu kakiiko ka Palamenti akalondoola entambuza y’emirimu mu bitongole bya Gavumenti (COSASE), okuwulira engeri gye bakozesaamu ssente ezaabaweebwa Gavumenti mu mwaka gw’ebyensimbi 2024/2025.

Ekitongole ekibatwala kyakulembeddwa akikulira Peter Francis Ojedde ate bannabitone kwabaddeko Charles James Ssenkubuge okuva mu Theatrical Association (U) abeegattira mu National Promoters Association, National Federation of Entertainment Promoters in Uganda, Uganda National Musicians Federation, Luba Events, FUPA n’ebirala. Olwabadde okutuuka, baasabye ensonga zaabwe bazoogere mu Luganda era abaayogedde oluzungu batono okwabadde Ssenkubuge, Daniel Kazibwe (Ragga Dee) ne Julius Mzee Bwanika okuva mu Pearlwood.
Ssentebe w’akakiiko, Muwada Nkunyigi olwabaanirizza, Abbey Musinguzi amanyiddwa nga Abitex n’alaajana olw’enkoofiira eyabadde emuggyiddwaako abeebyokwerinda era baagimuddiza n’agyenaanika. Bannabitone baaloopedde akakiiko nti ebifo omuzannyirwa emizannyo okuli National Theater ne Batvalley bikaddiye nga ne kaabuyonjo zaabyo zeeraliikiriza.
Akakiiko k’abayimbi akatuula ku lukiiko olwa waggulu mu kitongole ekibatwala baagambye nti tebabeesiga, baludde mu buyinza ate nga n’ennonda yaabwe tebaagisiima nti kuba kuliko bayimbi bokka. Moses Lubuulwa owa Luba Events yasoose kuteesa mu Luganda ate ne yeerabira n’adda mu luzungu olwabadde olw’ebitege. Yagambye nti ekitongole ekya UNCC tekibamanyi era kibajjukira waliwo afudde.
Baawulidde kipya nti waliwo etteeka eribatwala ( Uganda National Cultural Centre Act) eribawa n’obuyinza okubeera ne ofiisi ku National Theater ng’eno baaloopedde akakiiko nga bwe zipangisibwa abalala. Nti ssente ezaabaweebwa mu mbalirira y’omwaka 2024/2025 bawulira nti ezimu zaateekebwa mu SACCO ndala. Ojedde yagambye nti National Theater bagiddaabiriza ate ebya SACCO tabaminyi. Akakiiko kaddamu kutuula ku Mmande.

Tags: