Kasalabecca

Rema afunye kanyama amukuuma

OMUYIMBI Rema Namakula anywezezza ebyokwerinda bye bw’afunye omuvubuka amukuuma, be bayita bakanyama.

Rema
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUYIMBI Rema Namakula anywezezza ebyokwerinda bye bw’afunye omuvubuka amukuuma, be bayita bakanyama.
Emyaka gyonna, Rema abadde atambula ne maneja we kw’ossa bawolole era abantu abamu batandise okwebuuza ekimutuuseeko okutuuka okufuna omukuumi.

Kanyama ono takoma kutambula naye mu bivvulu, wabula abeera naye ne mu birala by’aba agenzeeko.
Okunoonyereza kwe twakoze kulaga nti, kanyama ono avunaanyizibwa ku kumuvuga, okugenda naye mu supamaketi okugula ebintu era obw’olumu akima n’abaana be ku ssomero.
Okutendekebwa kwe kubuzaabuza era abamu babijweteka nti obumanyirivu alina bwa bakomando nga y’ensonga lwaki n’okuseka alwawo.
Kanyama ono yasooka kulabibwa ng’ali ne Rema e Makindye bwe yali agenze okuwawula amaloboozi wakati mu kwetegekera ekivvulu kya Mesach Semakula.
Era yazzeemu okulabika ng’akutte manvuuli ku siteegi, Rema bwe yabadde ayimba ne Juliana mu nkuba eyatonnye ku Lwokutaano mu kivvulu kya Mesach. Rema yeegasse ku Sheebah Karungi, Spice Diana, Lydia Jazmine abatambula ne bakanyama.

Tags: