Kasalabecca

Mariam Ndagire alemedde ku Kingdom Kampala

OMUYIMBI Mariam Ndagire alamedde ku kivvulu kye okubeera ku Kingdom Kampala awaabadde ekya Mesach Ssemakula.

Ndagire Mariam (ku ddyo) ng’ayogera
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUYIMBI Mariam Ndagire alamedde ku kivvulu kye okubeera ku Kingdom Kampala awaabadde ekya Mesach Ssemakula.
Waliwo abaabadde bamusaba akikyuse olw’akavuyo akaabadde mu kifo ekyo, wabula n’ategeeza nga bwe yakkaanya ne bannannyini kifo ng’enteekateeka ezize zigenda kuba za mutindo ogwa waggulu ddala. Ndagire ategese ekivvulu kye yatuumye ‘Opus of love’ ekitegeeza ‘ebinnonoggo bya laavu’ nga December 11, omwaka guno. Kkampuni ya Vision group evunaanyizibwa ne ku Bukedde Ffamire y’etaddemu ssente.

Ndagire amaze emyaka 18 nga tayimba bwe yagamba nti awummuddemu nga y’ensonga lwaki abantu beesunze ekivvulu kye. Okuyingira kwa ssente; 200,000/-, emmeeza ya bukadde busatu n’obutaano

Tags: