Ssanyu ; Bye nzannya mu firimu binyumira abalabi

Musasi Bukedde
Journalist @Bukedde
Mar 18, 2024

Nkasasa nti gy’ogenda nange gye ndaga nkukwatireko ku nsawo yo...

Nvaako, olaba emmenya?

Ononsonyiwa naye ndaba nga tolina kukakaalukana nnyo nga nze wendi.

Olabika olina birala by’oyogala, byogere lumu ekyo nakyo kiggwe.

Ekyo sikyegaanye kuba naawe ondabikira nga tonnafuna muntu gw’osula naye?

Onsanzeeko akapande nti nnoonya?

Haa... olabika tojja kumbeerera mwangu naye kankugezeeko. Kati nkuyite linnya ki?

Coco Namyalo.

Coco Namyalo Mu Kateeteeyi.

Coco Namyalo Mu Kateeteeyi.

Otyo... bulijjo nnoonya eyeddira Omutima kati nkufunye. Mpozzi obeera wa?

Mbeera Nateete, Wakaliga.

Katonda yeebale. Mbadde nnoonya waakusengukira, nayo nfunyeeyo. Okola mulimu ki?

Ndi muzannyi wa ffirimu.

Ka ntereere bulungi. Ozannyira mu kibiina ki?

Red Pictures ekya Claire Nampala

Oyo mujjukira mu muzannyo gwa Emboozi z’Abaagalana ogwali ku Bukedde TV. Ffirimu ki gye wali ozannyidde mu kibiina ekyo?

The Forbiden, Natural Wealth oba giyite obugagga obwensibo n’endala.

Ali atya ‘film star’ wo mu bya laavu?

Tetubeera ffenna naye nga nkimanyi nti gyali mulungi.

 Biki by’omanyi ku bazannyi ba ffirimu nga bikunyiiza?

Eriyo abateekakasa kye bakola ate olumu, abamu ne bazannya ebibakolera mu kifo ky’okuzannya ebinyumira abalabi.

Nnina kye njagala onkolere naye mpulira ‘enthonyi’ era ntidde okukikugamba.

Kyogere kati kuba oyinza obutaddamu kundaba.

Olaba otya bwe tugenda ffenna ewange ne tuzannyayo ffirimu eyaffe babiri ffekka?

Ekyo kiyinza obutasoboka. Lwaki tugizannya tuli babiri ffekka?

Mbadde mmanyi nti wategedde dda nti nkwagala?

Amangu ago?

Si bwe ntera okukola naye kale ndagirira gy’ogenda okuliira Paasika?

Naawe oyagala gy’oba ogiriira?

Mbadde nsaba nkugulireyo akalabo ka Paasika, bakakuleetere gy’onoobeera?

Sisuubira nti osobola okungulira ekinsanyusa okusinga mikwano gyange bulijjo egimpa.

Sooka ombuulire ekirabo kye basobola okukuwa ku Paasika n’osanyuka nnyo?

Kuntwalako mu ‘theater’ ne ndaba ku mizannyo.

Kati naakusanga wa era ku ssaawa mmeka nkutwale?

Oweewange yanneesooka dda.

Mpa ku nnamba yo tunaabyogerako nga Paasika ewedde?

Wano w’onsanze we ntera okubeera era ojja kunsangawo n’olulala.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});