Mutabani w'omugenzi Iddi Amin yaziikiddwa mu limbo wakati mu kwaziirana
Nov 11, 2022
MUTABANI w'omugenzi eyaliko pulezidenti w'eggwanga, Iddi Amin Dada yaziikiddwa mu limbo wakati mu kwaziirana okuva mu booluganda n'emikwano.
By Meddie Musisi
Journalist @New Vision
Bya Meddie Musisi
MUTABANI w'omugenzi eyaliko pulezidenti w'eggwanga, Iddi Amin Dada yaziikiddwa mu limbo wakati mu kwaziirana okuva mu booluganda n'emikwano.
Abdul Naser Mwanga Amin yaziikiddwa mu limbo y'omugenzi Sheikh Nuuhu Mbogo e Kawempe mu disitulikiti ya Kampala.
Abakungubazi omwabadde bamaseeka abanene mu ggwanga ssaako nAbasiraamu abaali abakungu mu gavumenti ya kitaawe mu myaka gye 1970, be bamu ku beetabye mu kuziika kuno.
Nnyina w'omugenzi Madina Najjemba Amin yamwogeddeko ng'eyasinga banne bonna okuganja eri kitaabwe.
"Emirundi mitono ddala nze lwenabeeranga n'omwana oyo, saamuyonsanga nnyo kubanga yasinganga kubeera ne kitaawe era ne bwe yakulamu olwavanga ku ssomero ng'asiiba naye mu ofiisi," Madina bwe yagambye.
Abamu Ku Beetabye Mu Kuziika.
Amin's Ng'ali Ne Mutabani We, Abdul Naser Mwanga Amin
Yagambye nti ne mu kudduka wano ng' amagye agava Tanzania gamutwalaganya mu 1979, okutuuka e Saudi Arabia gye yawangangukira, era omwana ono yamuli ku lusegere.
Mwanga Ono yafiiridde mu kibuga Cairo ekya Misiri oluvanyuma lw'okulwalira akabanga.
Amin yali yamubbula mu linnya erya Abdul Naser eyali Kabaka w'e Misiri ng'ayagala abeere mukambwe nga ye. Ate erya Mwanga yalimubbula mu Ssekabaka wa Buganda Basamula Ekkere Mwanga ll ng'amujjukira olw'obuzira bwe yayolesa bwe yawakanya enfuga y'Abazungu mu 1888.
No Comment