Ensonga 10 eziwuniikiriza ezivaako abasajja okuzira ekyeggulo!

Aug 08, 2023

"Eriyo abakyala abacaafu, abateeyonja bulungi naddala mu bitundu bya wansi."

NewVision Reporter
@NewVision

Kojja Bryan Ssemanda, omukugu mu nsonga z’ekisenge agamba nti ng’abakyala tebanneemulugunya nti abasajja ababaziririra emmere, basooke beebuuze lwaki omuli
aba agizira? 

Annyonnyola nti eriyo abakyala abacaafu, abateeyonja bulungi naddala mu bitundu bya wansi. Mulimu n’ababeera bayonsa, amabeere ne gabatonnyera kyokka ne batafaayo kunaaba bulungi, omusajja agenda okumutuukako nga tawunya bulungi. 

Omusajja bw’ataba na mutima mugumu, ayinza okwetamwa n’akuzirira by’ofumbye. Ebirala ebivaako obuzibu biibino ; 

Omusajja ng'alabika nga atayagala kwegatta na mukyala we.

Omusajja ng'alabika nga atayagala kwegatta na mukyala we.

1. Okusoowagana mu maka: Watera okubaawo embeera ezireetera abafumbo okucankalanamu ne balemwa okukkaanya kati buli omu n’ata munne era omwami n’akaboozi k’omu
kisenge nako n’akateeramu.

2. Abakyala okumma abasajja akaboozi: Omukazi bw’omma balo okunyumya naye akaboozi enfunda eziwera ez’omuddiringanwa, ekiseera kituuka abamu ne batondowala nga ne bw’obeera kw’olwo omuwadde, azira kuba emabegako wali we yayagaliranga naawe wali omulumya.

3. Okuyomba kw’abakyala: Mulimu abakyala abataggya mumwa ku basajja nga buli omusajja lw’adda awaka, amutandikako. Embeera eno ereetera abaami abamu okwekyawa
ne bazira emmere y’omu kisenge.

4. Obwenzi bw’omukyala: Abasajja abamu bwe bakwatira bakyala baabwe mu kikolwa ky’obwenzi basunguwala ne babaziririra n’akaboozi era ng’abamu batera n’okubazirira ddala ne batabaddira ne basigala kusula mu nnyumba emu na kukuza baana naye ng’ebyokwegatta tebikyaliwo.

5. Abaami okulya obumpwancimpwanci: Olumu abakyala balumya nnyo babbaabwe ne kibasindiikiriza okuganzaayo abakyala ebbali abatali ba kwegayirira ababakakkanya ejjakirizi lye baba nalyo. Era oluusi omwami bw’ava eyo okudda ew’omukyala w’awaka abeera yekkutidde dda omukyala ne bwe yeenyoola atya okumukoonyaako ekyensuti, aba tajja kumuwuuna.Ensonga endala, Kojja Ssemanda z’awa eziviirako abasajja okuzira emmere kuliko;

7. Obutamanya bukodyo obw’okunyumya akaboozi: Abakyala abamu tebamanyi bukodyo bunyumisa kaboozi. Bwe babeera mu kazannyo, tebakassaamu wadde n’ekirungo, abasajja abatali babuulirire beenyiwa ne batandika okuzira.

10. Enkyukakyuka y’omubiri gw’omukyala: Naddala abo abazadde, mu basajja abamu balemwa okugitegeera ne basalawo okukuba abakyala omugongo. Mu bakyala abazadde, lasitiika zitera okulagaya n’abeera nga tamiima bulungi munne, omusajja atali mutendeke ayinza okwetamwa okulya ekyekiro.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});