SSENGA ; Ku mpewo ekunta ekiro, wummulirako mu kifuba ky'omwami wo ofune akabugumu

Aug 11, 2024

EMBEERA y'obudde ey'obunnyogovu, abasajja mukimanye nti ebbugumu erisooka, omukyala wo alifuna awummuliddeko mu kifuba kyo.

NewVision Reporter
@NewVision

EMBEERA y'obudde ey'obunnyogovu, abasajja mukimanye nti ebbugumu erisooka, omukyala wo alifuna awummuliddeko mu kifuba kyo.

Okuwummulirako mu kifuba ky'omwami tekigeraageranyizikika na kunywa caayi okukuwa ebbuggumu.

Ate tokitwala nti omukyala omuteerewo buteezi kifuba n'awummulirako wabula olina okumulaga omukwano ng'azze okunoonya ku akabugumu okuva gyoli.

Abaagalana nga banyumirwa obulamu

Abaagalana nga banyumirwa obulamu

Ssenga Barbra Nangendo akugamba nti omusajja olina okwaniriza munno bw'omulaba ng'empewo emuyiseemu n'asembera mu kifuba kyo era kino tekiriiko oba ali mu ddiiro mulaba ttivvi oba mu buliri mu kisenge kyammwe.

Era naawe ggwe kennyini osobola okumusaba ajje awummulireko awo era kozesa ebigambo ebirimu akawoowo ng'omuyita mannya agamuwaana.

Wadde nga mwebisse bulangiti ezibabugumya, kirungi nnyo singa era omuweeweetako nga mu mugongo n'ewalala w'osobola okukwata mu ngeri emuleetera akabugumu.

Osobola okumunywereza mu kifuba kyo asobole okuwulira nti oli wuwe okwo osobola okwongerezaako bu peeke n'okumunywegera awulire nga ddala ‘akufiiringa'.

Osobola okutambuza engalo zo mu nviiri ze mu ngeri ey'omukwano era olw'okuba abakyala balina obusimu mu nviiri, asobola okutandiikiriza okwebaka kuba aba akakkanye omubiri.

Era, okumukwata mu nviiri kisobola okumussa mu mmuudu y'okunyumya akaboozi n'aggweeramu ddala empewo. Abasajja mukimanye nti eddoboozi lyo liwulikika bulungi eri mukyala wo era muleke yeebake nga bw'aliwuliriza.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});