Ngalottaano n’endwadde 12 z’awomya

Oct 01, 2023

OMUDDO oguyitibwa Ngalottaano (ekimyula), abantu abasinga bagulaba ku makubo ne mu bisaalu ne baguyitako nga tebategedde mugaso gugulimu.

By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision

OMUDDO oguyitibwa Ngalottaano (ekimyula), abantu abasinga bagulaba ku makubo ne mu bisaalu ne baguyitako nga tebategedde mugaso gugulimu.
Abasinga baguyita Ngalottaano kuba ekikoola kyagwo kyefaanaanyiriza ekibatu n’engalo era kyegabanyaamu emirundi etaano, gwa kiragala era gumulisa ekimuli kya kyenvu ng’ebiseera ebisinga gutera kwemeza gwokka.
Dr. Joseph Mawula, ajjanjabisa emmere okuva mu Novel Biotech  Ltd agamba nti, omuddo guno mu lulimi lwa ssaayaansi guyitibwa ‘Tithonia Diversifolia’ ate abasinga
mu Lungereza baguyita Mexican Sunflower. Agamba nti omuddo guno ebiseera ebisinga we gumera tewatera kudda mmere kuba gukozesa ebiriisa ebisinga mu ttaka. Gusangibwa awabeera amayinja, era gwekuza gwokka naye nga gulina ensigo ezisobola
okusimbibwa era tegwetaaga bigimusa okukula.
ENKOZESA Y’EDDAGALA LINO N’ENDWADDE ZE LIWONYA
Dr. Mawula agamba nti, omuddo guno gukaawa nnyo naye gye gukoma okukaawa n’ebirungo. 1Omusujja gw’ensiri: Omuddo guno mulungi mu kulwanyisa n’okuwonya omusujja gw’ensiri bw’ogufumba n’onywa. Ate omuntu ng’alina omuliro omungi mu mubiri oba ng’ebbugumu lirinnye, gukola bulungi okulikkakkanya bw’ogufumba ne
weeyoteza nga weebisse.
Omuddo guno gulimu ekirungo kya kiragala ekiyamba mu kuwonya endwadde, era bw’ogufumba n’onywa gukukkakkanya ebitundu 74 ku 100.
2Ekiddukano: Guyamba okukomya embiro (okuddukana) ezivudde ku nsonga ez’enjawulo, ate guzzaamu n’amaanyi mu mubiri n’okuyambako okwongera okuzimba obutoffaali bw’omubiri.
3 Ssukaali: Omuddo guno guyamba abalwadde ba ssukaali kuba guyamba mu kukendeeza ssukaali obutalinnya ate ne bw’aba alinnye era n’olinywa era ssukaali akkakkana.
4 Amasavu amabi: Abantu abalina amasavu amabi mu misuwa agaleeta puleesa bwe weemanyiiza okunywa eddagala lino kikuyamba okukendeeza amasavu ago.
5 Obulumi: Omuddo guno era guyamba okutta obulumi omuntu bw’agunywa ng’agufumbye oba okugugaaya oba okuguyenga n’onywa. Wabula osooka kugwozaako ne gutukula mu mazzi amayonjo.
6 Okukwasa omusaayi: Dr. Mawula agamba nti, omuddo guno era gutangira omusaayi
okwekwata naddala ng’omuntu asoose kugufumbako.
7 Obutwa mu mubiri: Obucaafu bwe tuliira mu mmere ne bufuuka obutwa mu mubiri n’eddagala erifuuyirwa ku bibala n’ebirime bye tulya bw’onywa omuddo guno gukuyamba okubisengejja ne bifulumizibwa mu mubiri.
8 Endwadde eziva ku bucaafu: Ngalottaano guyamba okutta obuwuka obusirikitu obuleeta endwadde eziva ku bucaafu nga ezo eziyita mu muwaatwa ogufulumya omusulo, ekiddukano ky’omusaayi n’ekitali kya musaayi, n’endala. 9 Lubyamira: Guyamba okulwanisa lubyamira atawaanya abaana n’abakadde naddala mu biseera by’enkuba. Fumba owe omulwadde anywe buli lw’asobodde. 10 Kandida: Omukyala
asiiyibwa wansi (kandida) asobola okweyoteza amazzi ago nga gabuguma n’akkakkana.
11 Ebizimba n’amabwa: Abantu abalina ebizimba by’oku ngulu n’amabwa omuli
ne alusa ogunywa oba okukunya n’osiiga ku bbwa kiriyamba okukala n’okuwona amangu.
12 Kookolo: Buli muntu asaana yettanire omuddo guno kuba gulwanyisa obutoffaali bwa kookolo w’omu musaayi olw’ebirungo ebigulimu.
NGALOTTAANO AKOLEBWAMU AMAJAANI
Dr. Mawula agamba nti, ku Novel Biotech Ltd, eddagala lya Ngalottaano balikolamu amajaani ga mirundi ebiri. “Bwe tukola amajaani gaalyo amakalu nga temuli kintu kirala kyonna eryo tuliyita B13T era tuliguza balwadde ba ssukaali. Omulwadde tumulagira okusenako eggiiko emu (eggiiko esena ssukaali ennene) n’atabula mu mazzi agookya buli lunaku emirundi ebiri n’anywa. Bikaawa nnyo naye ate bikola. Omulwadde wa alusa, eddagala lye tuliyita HP Killer, lino tulitabula mu ddagala eddala ne kiba nga kirungo era lino erya alusa liba terikaawa nnyo kuba mubaamu ebikolo ebirala

EYALWALA SSUKAALI ALAZE BW’ALIKOZESA

Steven Yiga, yalwala ssukaali, annyonnyola bw’ati ku ngeri Ngalottaano gye yamuyambamu:Ndi mulwadde wa ssukaali naye eddagala lino linnyamba
okumukkakkanya.
Okusooka nali sirimanyi nti, likkakkanya ssukaali nga buli kaseera omuliro gunsumbuwa mu mubiri, ate nga ssukaali bw’aba alinnye mpulira bubi nnyo. Naye Nnaalongo lumu yalifumba n’ahhamba ndinywe wadde nga likaawa nnyo, wabula okuva olwo sirivangako kuba kati ssukaali wange takyalinnya ebiseera ebisinga abeera wa kigero ate omuliro gwo gwagendera ddala. Olw’okuba nali nnumizibwa, mu kusooka saaliwulira nti likaawa, omuliro gwamala kunzigwa mu mubiri ne ndyoka
ndiwulira. Kati nalimanyiira naye era ndinywa kuba linnyamba. Nfuba okulaba nga
buli lunaku nnywayo ekikopo.
AJJANJABISA OMUDDO ALYOGERAKO BW’ATI
Nnaalongo Rehemah Nakazibwe, ajjanjabisa omuddo agamba nti, omuddo guno abantu abasinga tebamanyi mugaso gugulimu naye ddagala kkulu eritalina kubula mu buli maka.
Abantu abalimanyi balitya lwa kukaawa naye ndowooza gye lyakoma okukaawa n’amaanyi mu kuwonya.
Eddagala lino liyambako okukkakkanya ku mutima ogukuba ennyo bw’oba otera
okulinywa omutima gutuukane gukkakkana entunnunsi ezitera okukusumbuwa ne zikendeera. Liyambako n’okussuusa amabwa g’omu mimiro kyokka ate n’olubuto bwe luba lwesibye era eddagala lino lisobola okulusumulula. N’abalina enkoko awaka kiba kirungi n’oziwaako kuba liziyambako okutangira obulwadde

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});