Ssanyu ; "Bw'obaamu ne ssente omusaayi gutambula bulungi mu misuwa!"
Nov 14, 2023
"Jose Chameleone tomugeyeza wendi"

NewVision Reporter
@NewVision
Ono si Sherry Matovu, omuyimbi! Ng’ozze buto?
Olabye bubi. Si nze Sherry.
Eee... ng’omufaananye! Oba oli muto we?
Simulinaako kakwate konna, nange nkoma ku kumulabira ku mikutu gy’amawulire.
Naye oshanana! Olinayo siponsa?
Ekya siponsa, sikitegedde.
Mbuuza nti ali atya taata bulamu bwo, akukuuta ku mugongo abalala we batatuuka.
Onzijukizza omwana wa bandi. ‘Zaddy’ gyali yeeyagala talina ttabu.
Sharitah Baby Face Ng'anyumidde Ku Kasikaati.
Okikola otya okwekuumira ku mutindo?
Ssente yagenda wala. Awali ssente n’obulamu bugonda, ng’ozirina owulira nga n’omusaayi gutambula bulungi mu buli kasuwa k’oku mubiri.
Ky’ogamba gwe ezizo z’okola bw’oze-ssaamu tezikuluma?
Ng’oggyeeko ssente ‘Zaddy’ z’anteekamu, ndi mukyala mukozi era nnina edduuka ly’engoye n’ebyokwewunda. Nfissaako ez’okwenyiriza era ze nnessaamu tezinnuma.
Mu mirimi gyonna, lwaki walondawo kutunda ngoye na byakwewunda?
Uganda yaffe kati ya bagezi bokka. Kasita odda mu bya nti; ‘nasoma kino, kino sikikola’ ng’owedde okulumbibwa obwavu obuliko n’obwana bwako. Ekirala, ng’omuntu, nnyumirwa nnyo ebyemisono era nnina bassereebu bangi be nnyambaza.
Oyogedde ku bassereebu n’onzijukiza Josephat Sseguya, pulezidenti w’Olugambo gwe nsinga okukooneramu. Ggwe mu bayimbi ba wano, ani gw’osinga okumatira?
Jose Chameleone tomugeyeza wendi era mba nja kumubuusa. Awali Chamilli n’okulwana nnwaana. Emiziki gye girina engeri gye gintabula, n’abamu bye bamwogerako ebikyamu mba saagala kubiwuliriza.
Nnyimba ki eza Chamili ezaakuyingira ntegeezeeko DJ Shiru azikukubire mu pulogulaamu Akayisanyo ku Bukedde TV?
DJ Shiru bw’ankubira Mama Mia, Jamillah, Valu Valu, Badilisha, Teri Mubi lwe yayimba ne Afrigo Band. Mpozzi n’olwa Forever ne Banana lwe yazzeemu ne Fik Gaza, awo nja kuba mpeddeyo.
Yiii.. Zonna anaazikuba atya omulundi gumu?
Atetenkanye waakiri buli lunaku ankubirengayo lumu lumu.
Mmugambe nti gwe ani azisabye?
Sharitah Nakate gwe baakazaako erya Baby Face Sharitah.
No Comment