ESSANYU libugaanye ekibinja ky’abasuubuzi abaawerekedde ku ssentebe waabwe John Kabanda mu kkooti, omulamuzi bw’asazeewo nti omugagga Christine Nabukeera ateekeddwa okwewozaako era yeetegeke mangu.
Omulamuzi Sanuula Namboozi ku kkooti ya Buganda Road, yategeezezza mu nsala ye nti wadde tayagadde kwesigama nnyo ku bujulizi obw’omunda obuweereddwaayo enjuyi zombi, naye azudde nti Nabukeera alina omusango era ateekwa okwewozaako n’okukakasa kkooti nti emisango egimuvunaanibwa teyagizza.
Kino kyasaanudde Kabanda n’ekibinja ky’abasuubuzi mu kibiina kye ekya New Generation Traders Association abajjuzza kkooti nga bagamba nti omugagga bamumezze lawundi esoose.
Kabanda yassizza ekikkowe n’awanika emikono n’okuwoggana omulundi gumu nti ‘Nabukeera munywezezza...’
Kabanda yaggula emisango ebiri ku Nabukeera nga ogumu amuvunaana okumenya edduuka lye nnamba E21 erisangibwa ku kizimbe kya NANA ARCADE e Nabugabo.
Ogwokubiri nti yamubba ensawo z’engatto 43, paasipooti ye, ssente enkalu obukadde 175 ne ddoola za America 125,000.
Kabanda yatwala abajulizi mwenda nga naye kw’ali era ne balumiriza Nabukeera nti emisango egimuvunaanibwa gyonna yagizza ne basaba kkooti emusingise emisango gyonna era omulamuzi yasomye nti singa ogw’okumenya gumusinga asibwa emyaka musanvu mu kkomera.
Wabula Omulamuzi yategeezezza mu nsala ye nti looya wa Nabukeera, Dusman Kabega yasambajja obujulizi bwonna obw’oludda lwa Kabanda n’agamba nti bugendereddwaamu kwonoona linnya lya mugagga.
Wabula wadde buli ludda lwawaayo okwewozaako kwalwo, Omulamuzi yategeezezza nti ku mutendera guno omusango kwe guli tayagadde kwesigamya nsala ye ku bujulizi wadde ku mateeka ag’enjawulo wabula asazeewo nti omugagga Nabukeera ne Mawanda balina omusango gwe bateekeddwa okwewozaako era amangu ddala okuwoza kugenda kutandika, okuzuula ekituufu ekyaliwo .