"Saagala musajja anziza mu muzigo"
Aug 14, 2024
"Njagala omusajja anaasobola okunjiwamu omukolo ogw'amaanyi"

NewVision Reporter
@NewVision
Nnyabo nsonyiwa okukwemanyiiza naye nnina kye nkwebuuzaako
Obwedda oyita nze? Nsonyiwa obutasooka kukwanukula kuba oluusi bwe siwulira ampita linnya lyange, mba mmanyi tayogera nange.
Erinnya lyo linga'mbe, olulala lye nja okukuyita
Nze Juliet Namakula, mbeera Namasuba -Kikajjo mu Wakiso.
Simanyi opakuka kuddayo kufumbira mwami?
Sirina mwami naye nnina ebimpuuba.
Akanyiriro k'oliko, onkanzeemu nti tolina agamba...
Ekituufu nninayo omwana wadde nga sibeera na taata wa mwana kuba ndi birala nnyo kati.
Obulamu bw'okukuza omwana nga toli na kitaawe, obusanze otya?
Bikalubamu naddala ng'olaba omwana wo abulamu laavu ya taata ate nga toli naye.
Olwo taata w'omwana bw'alidda ng'ayagala muzze ku mwana?
' Kye twakomako kyekyo.
Okola mulimu ki?
Ndi muzannyi wa ffirimu eranalabikira mu ffirimu nga Nabbosa, My twin sister Bella, My chance ng’eno ya butundutundu n'endala. Era njagala kutandika dduuka eritunda cakalacakala obudde bwonna okuva kati.
Okuzannya ffirimu onookukwataganya otya n'edduuka ly'ogenda okutandika?
Eby'okuzannya ffirimu tebitwala budde bungi era bwe naavangayo nga nneesogga edduuka lyange nga nteega ssente anti ez'ennaku zino zaakutaayiza.
Olwo obufumbo osuubira kubuyingira ddi?
We nfunira omuntu omwesigwa nja kuba ng'enda bugenzi. Naye njagala anaasobola okungiwamu omukolo ogw'amaanyi, abantu bave gye bavudde ng'amaaso gonna gali ku nze, nga bwe nkyusa gomesi bwe nnyambala eno bwe nteekamu endala nga bwe nzina amazina. Bannange mbyesunga.
Ekituufu kiri nti, oyagala omukolo?
Nnyo n'amaanyi era nsaba Mukama aluntuuseeko.
Bisaanyizo ki by'oyagala mu musajja?
Njagala ng'alinamu ku bintu bye. Saagala anziza mu muzigo, njagala eyazimba.
Kati bw'anaaba tapangisa, naye ng'ayagala obeere mukyala nnamba bbiri, okkiriza?
Njagala omusajja owange obw'omu, saagala kuyingirira maka g'abakazi kuleebuukana na bintu bye simanyi.
Kati bw'olifuna omusajja ataakwagale mu byakuzannya ffirimu?
Oyo abeera annemye. Okuzannya katemba ne ffirimu bindi mu musaayi.
Abawala abali mu myaka gyo obawa bubaka ki?
Basooke beekolerere, ssente gye weekoledde ennyuma nnyo ate obulamu ate obulamu bw'okusabiriza bukalubamu.
Kifo ki mu Uganda kye wandyagadde okubeeramu?
Muyenga oba Ntinda nneegombako okubeerako eyo nga ndi mu maka gange sipangisa nga teri agenda kunkonkona nti munnange omwezi guweddeko sasula.
No Comment