Ssanyu ; "Enkumbi terimba, siga okungule ebinyirira"
Oct 18, 2024
"Nze nkyasoma, ebyomukwano si bye ndiko."
By Ssenga wa Bukedde
Journalist @New Vision
Nakato leka.. tweliire, Nakato leka... tweliire obulo bwaffe obw’obulamu... ishi ishi….?
Mukulu ate kiki?.
Nva wammwe ne bang'amba nti oli eno olima, ko nze nti tekisoboka?
Nga tekisoboka kitya, onsanze nkola ki?
Kati wazzizza musango ki ogukuweesezza ekibonerezo bwe kiti?
Sirina musango gwe nazzizza kuba nze okulima n’okuwaata binnyumira nnyo buli lwe nzija mu kyalo.
Ssanyu Muwala
Oli wano weerimyalimya naye kimanye nti byakwonoonekedde dda..
Ate bitya?
Kibirango yakuloopye ewa Cayimani mbu oyitirizza okumuliira ffene we ate bw’akugambako ku nsonga ze ng’omubadala?
Nze AN, gw’ogamba?
AN bye biki?
Angella Namiyonga
Ggwe wennyini, mbu olumu wamugamba bw’aba akwagala akulimireko ekisambu kyammwe era n’akirima naye era tewamusiima?
Oyo teyali nze. Nze nkyasoma, ebyomukwano si bye ndiko.
Era nange mba kuba ggwe, Kibirango nedda...
Era ku Namulonge kuno, tekuli muvubuka gwe nnyinza kuganza.
Okimanyi luli twali mu lumbe ne mpulira maama wo ng’anyuma nti akwagaliza obufumbo?
Era ng’omuzadde yenna bw'aba. Maama Rebecca Naluze Kasirye nja kumulaga omusajja ng’obudde butuuse.
Bw’obeera e Kampala eyo, okola mulimu ki?
Ndi muzannyi wa ffirimu mu kibiina kya Pearl Screen Pictures Uganda.
Ye mmwe be ndaba mu kibanda ewa Maseruka?
Akabuuza ggyako. Ndi mu muzannyo gwa; Mariana, Ebibala by’omukago, Labour of Love, Guluma Yagguza, Agamyuka omutezi n’emirala.
Eyo e Kampala mulya ku ntuntunu, amatungulu..?
Byonna bibaayo naye nze nsinga kwagala muceere na kibumba.
Bw’obeera e Kampala, tobeerako ng’otusubwa?
Nsubwa nnyo emizannyo gy’omu kyalo naddala okwepena.
Naye Nami bw’otunuula obulungi mu maaso gange tolina ky’olabamu?
Ndabamu ebiyengeyenge, olinga ayagala okukaaba.
Singa ogaana okunteeka waakiri ku kabalaza k’omutima gwo,ng'enda kukaaba?
Nninayo omuntu wange gwe njagala ate buli kimu ekindiko akyagala.
Naye kati ggwe omuwala omulungi, kiki ekikukeeza ku nkumbi?
Enkumbi terimba, bw’oginyiikirira okungula ebirime ebinyirira.
No Comment