Omusajja amalamu obugoba 21 omwezi tasobola kukwatibwa prostate cancer - bakugu
Nov 12, 2024
SSAAYANSI azudde ng’omusajja okwongera ku mirundi gy’akola akaboozi kyandimutaasa ku kkansa wa pulositeeti (prostate).

NewVision Reporter
@NewVision
SSAAYANSI azudde ng’omusajja okwongera ku mirundi gy’akola akaboozi kyandimutaasa ku kkansa wa pulositeeti (prostate). Mu mbala ennyangu, emirundi nga 21 buli mwezi gimumala.
Wabula nga ku buli mulundi ku gino, ateekwa okuba nti atuuse ku ntikko. Ekigendererwa, kwe kuwa ekinywa kya pulositeeti (ekikwata n’okusindika omusulo) okukola dduyiro amala kisobole okusaanuusa amasavu agakimerako bwe kimala ebbanga eggwanvu nga tekyekyusa.
Amasavu gano ganafuya ekinywa kino ne kireeta embeera ng’omusajja takyasobola kusiba musulo. Embeera eno etera kukwata abasajja abali mu myaka 45 n’okweyongerayo.
Bino biri mu kunoonyereza kw’abasawo mu America abaakuliddwa Dr. Jeff. Abakugu bano baazudde nga kino kiyamba abasajja abali mu myaka 50 n’okudda waggulu. Ku basajja abateeka omweso ne bakuba safaali 3 buli kiro, kino kibeetaaza wiiki emu yokka.
Naye ku balala abateeka safaali nga 7 buli kiro; bo kibeetaagisa ennaku 3 zokka okumalayo ddoozi eno. Mu bavubuka, gino emirundi giba mitono, naye ku basajja abamu abali mu myaka nga 50, kibeetaagisa okwekemba kuba amaanyi g’enkasi gaba gakendeddemu.
Abakyala b’abasajja ab’emyaka 50 amawulire gano baagaanirizza mu ngeri ya njawulo. Abamu baagambye nti kinaabawonya ku basajja bassemugayaavu ababadde beebaka obwebasi mu buliri mbu bakooye olwo bakazibattu ne bafa ennyonta y’akaboozi eteriiko aweweeza.
Ate nga mu myaka egyo nabo bakazi battu beekolako ne beezigula okuva mu kiwato, n’okwongera ku balongobbuli kiseera olw’okwagala abasajja baabwe babawe ekibbiitu.
Era bangi ekiyondo bakisimbira ddala ku lusebenju olw’ensonga eno. Naye ate abakyala abalala abali mu bufumbo n’abasajja abali mu myaka nga 50, bo baakubye miranga.
Nga bagamba nti leero luno, abasajja bagenda okubakuuta ebbakuli kutuuka kuzinuubula. Ab’endowooza eno, be balina abasajja nga bateesi ba mweso balungi. Kuba abakazi bano baagambye nti abasajja baabwe bateeka omweso ne bavuga safaali
eziri wakati 6-7 buli kiro.
Nti kuba mu myaka egyo 50, abasajja lwe bawoomerwa akaboozi okukamala, baba bafunye obukugu! Abakazi bano baagambye nti mu lugendo lwabwe olw’akaboozi eriyo abasajja abaakula ne bawola.
Nga bwe batuuka mu kyeso, eby’omukwano bibeeranga ebiweddewo n’olabira ddala ng’ali mu kukutulugunya!
Nti ye nno bw’akukola sitayiro eya kabuzi, akusimba enkasi n’otuuka okugiwulira mu kamwa. Nga kyokka ne bw’omugambako nti ‘…dadi onzita…!’ ate ayongera bwongezi kukupika nkasi; akitwala nga ekisoko ky’otadde mu luyimba lwa siisiiri okumwongera amaanyi ayongere okusamba!
Kale abakazi abalina abasajja bwe bati be baagambye nti, ‘… leero abasajja bafunye kye beekwasa, kinaabula omukombi..!’
Wabula era saayansi yagambye nti omusajja ne bw’aba alidde akaboozi n’atuuka ku siteegi y’okumala empewo, eri obwongo buba ako akagoba bukabala nti kaweze. Kuba era abeera afunye embeera y’okuwejjawejja ebiteeka ekinywa kya pulositeeti mu kwewujja ne kisobola okumerengula obusavu obuba bubembeddeko, obuyinza okukinafuya.
No Comment