Obadde okimanyi nti omuze gw'okwemazisa ye nsonga lwaki opipira mu kisaawe?

Dokita Christopher Mutambuze, owa Alpha Clinic e Nakulabye agamba nti ekimu ku bireese embeera eno, bye biragalalagala abavubuka bye bakozesa mu bubba nga tebamanyi nti ate biboonoonera sisitiimu y’ekisenge.

Obadde okimanyi nti omuze gw'okwemazisa ye nsonga lwaki opipira mu kisaawe?
By Ssenga wa Bukedde
Journalists @New Vision
#Mukwano #Ssenga #Kisenge

OKUNOONYEREZA kulaga nti abavubuka abapipira mu kisaawe, beeyongera buli olukya era n’abatunda eddagala ly’amaanyi g’ekisajja beekaaliisa.

Dokita Christopher Mutambuze, owa Alpha Clinic e Nakulabye agamba nti ekimu ku bireese embeera eno, bye biragalalagala abavubuka bye bakozesa mu bubba nga tebamanyi nti ate biboonoonera sisitiimu y’ekisenge.

Omusajja nga yennyise mu biroowozo olw'obutaba na maanyi.a

Omusajja nga yennyise mu biroowozo olw'obutaba na maanyi.a

Agamba nti abavubuka abamu, batandika okukozesa ebiragalalagala bino nga bakyali mu ssomero nga babiriira mu bumpwancimpwanci kyokka ne bicankalanya enkola y’emisuwa n’okukola kw’obusimu ate nga bino, bikola ky’amaanyi mu kusitula omusajja ng’atuuse mu kisenge.

Dokita Mutambuze agamba nti n’olw’ebbula lya ssente, okukyayibwa abaagalwa, obutakkaanya ne mikwano gyabwe, nabyo bivaako omuvubuka obutasaza bulungi kuba bino biviirako obutafuna kirungo kya ‘testosterone’ mu mubiri ate ekikosa entambula y’omusaayi ekivaako amaanyi g’omusajja okwesala n’abeera nga tasobola kukuba ‘serefu’ oba obutawaangalira mu kisaawe ng’akyanga omupiira.

 Situleesi era ereetera omuntu okukoowa mu mubiri n’obutaba butebenkenvu n'atuuka nga takyasaza.  Ensonga endala ezivaako okupipira ze zino. ; 

1. Puleesa ne sukaali nabyo byeyongedde mu bavubuka ebivaako okufunda kw’emisuwa ekikendeeza emisinde omusaayi kwe gutambulira okutuuka mu busajja era n’akaluubizibwa okuyimuka n’okuwangaala mu kisaawe.

2. Obutawummula kimala; Abavubuka abamu ennaku zino tebaagala kuwummula kimala, emibiri ne gikoowa ne batuuka ekiseera nga tebasobola. 

3. Omuze gw’okwemazisa nakyo kizibu: Ensangi zino abakulu, abavubuka n’abato balina omuze gw’okwemazisa, ekyonoona ebinywa n’obusimu nga we batuukira okukola ebituufu, bavuya buvuya.