Ssanyu ; 'Omusajja omumpi tankolera'
Dec 04, 2024
"Omulenzi yanfunyisa olubuto n'angoba mu nju n'awasizaamu omuwala omulala, kinkaabya amaziga"

NewVision Reporter
@NewVision
OWAAYE nakulabye dda ng’osangula amaziga, linnyo lye likuluma? Kiki?
Nnina ekintu kye nzijjukidde ekyannuma, kwe kukulukusa ku maziga.
Bwe kiba ng’olina omuntu wo eyafa gw’ojjukidde, lekeraawo okukaaba beera ng’omusabirako buli lw’omulowoozaako.
Tebiriimu kufa kwonna munnange.
Vannessa Magezi ng'anyumidde mu kateeteeyi.
Maada, kiki ekyatuukawo ku lunaku olwo ekyakulumya kityo?
Leero lwe giweze emyaka esatu bukya ggaayi oli, ansuulawo.
Oyogera okaaba siwulira bulungi...
Ggaayi yanfunyisa olubuto n’angoba mu nnyumba ye, n’awasizaamu omukazi omulala.
Tewali musajja ategeera asobola kukola kintu bwe kityo ku mukyala owoolubuto!
Owange yakikola na kati tetuddingananga.
Olwo okukufubutula yali akulaganga ki?
Yakeera ku makya n’angoba bugobi.
Omwana wamutuuma mannya ki nga kitaawe amaze okukugoba?
Namutuuma Jeremiah.
Naawe mbuulira ku mannya go
Nze Vannesa Magezi, mbeera Nakulabye.
Bwe baakufubutula mu nju, wadda wa?
Naddukira wa mukwano gwange Dimitiyana Mbabazi, yambeererawo nnyo.
Ndi wano nnoonya we ntandikira nkunyumize ebinaakusesa naye bimbuze?
Mutabani wange yekka y’andeeta essanyu, buli lw’abeera obulungi ne mmutuusaako buli ky’ayoya, nange mbeera musanyufu.
Ye kati ggwe, gwe baayuzaayuza edda omutima, okyalinamu akaagala? Oba ebya laavu wasigala kubiraba bulabi?
Shiaa...sisobola kubivaako, lwakuba nalayira obutaddamu kwagala musajja gwe nsinga buwanvu.
Mbuulira ku bisaanyizo bye wandyagadde mu musajja gw’onoddamu okwagala?
Njagala muwanvu, ng’alinamu ku ssente, nga mwesimbu, ng’atya Katonda, nga mwetegefu okumutwala mu bakadde bange ate nga mukozi.
Mbu olwo n’akanamba okagaba?
Ago mateeeka; 0708895624
Singa wabaawo omusomi wa Bukedde eyeewaayo okukunaazaako amaziga, bintu ki by’alina okwewala bwe munaaba baakuwangaala?
Saagala muntu annimba, ne bwe gaba amazima ga ganannuma, ggwe gang'ambe okusinga nze okukyezuulira.
Obudde bwo obw’eddembe, obumalako okola ki?
Njagala nnyo okulaba ffirimu ezitiisa.
Muzannyo ki gwe wazannyanga mu buto ogwakuleeta amabwa n’enkwagulo ku mubiri naye ng’oguddamu enkeera?
Omuzannyo gw’okwepena n’okukuba dduulu, gwandekera ebinuubule bingi.
Singa tebaakuzaalira mu Uganda, nsi ki gye wandyagadde okuzaalibwamu?
Ng'amba singa banzaalira Canada, ensi eyo njegomba nnyo.
Mpaayo omuze gumu ogwakukeeta ku muzigo ne gutuuka n’okukusengulawo n’ofuna awalala?
Obucaafu naddala nga mugabana kaabuyonjo bwantamya emizigo bannange!
Wamma bino bye mutambula mu kibuga, singa omuntu asuula ssente ze ng’ate naawe oli mwavu nnyo n’ozironda ozimuddiza oba ozitwala?
Haaa... onzise! Naye engeri gyendi omukyala ow’eddiini, nzimuwa ne mmusaba n’ampaako bw’aba ayagadde.
Ate lunaku ki lwe wali ogenda okupacca omuntu oluyi mu kibuga era yali akukoze ki?
Nali ku booda nga mpeese ensawo yange, tuba tuyita ku ppaaka ya bbaasi, ekivubuka ne kigisika nga kimanyi ngenda kyali kinsudde wansi, naye nnali nkisse.
Gye wasomera, ssomo eryakutawaanyanga ennyo era nga buli lw’olaba omusomesa alisomesa ng’ayingira ekibiina, ng’omutima gukukuba?
Okubala okwo tokunnyongera! Nze nneewuunyanga n’abakuyita oba balyanga biki ffe bye tutaalya.
Ondabikira okubeera n’akatebe mu ofiisi z’abakulu gy’otuula ne bukuwuuba n’odda ewaka nga tokuluusanyiziddwa?
Nze ndi munnamisono nkola gwa kutunga, eby’okwewuuba mu butebe sibimanyi.
No Comment