Ssente y'Ekikazi n'engeri gy'eva ku luwuzi okukola ku bizibu by'awaka
Mar 11, 2025
Ddala ddi ssente y'ekikazi lw'evaayo?

NewVision Reporter
@NewVision
Angella Birungi, nnaabafumbo ku Klezia ya St. Joseph Catholic Church Lweza annyonnyodde ddi ssente y’ekikazi lw’ekola. Agamba nti; Ebitabo ebitukuvu bikuutira abasajja okulabirira amaka gaabwe, omuli okuliisa ab’omu nju yo, okubambaza, okubajjanjaba n’okusomesa abaana.
Omusajja bw’amaliriza okukola ebyo byonna, era kimukakatako okukwata ssente enkalu n’aziwa mukyala we ne yeemalira ebyetaago bye ebitali bimu.
Wabula ensi ekyuse era abafumbo abasinga batuula ne bateesa era omukyala n’ayamba omwami we singa omukyala aba alina omulimu oguyingiza ensimbi.
Jacqueline Nakimbugwe, omusubuuzi mu kibuga agamba nti ye, omwami we ye yamutandikira bizinensi mw’akola naye ate era avunaanyizibwa ku bintu byonna awaka.
“Ssente ezange nzikolamu byange omuli n’okusanyusa ku maama wange eyankuza nga mmutwalako e Dubai okuwummulamu,” Nakimbugwe bw’agamba n’ayongerako nti ssente y’ekikazi, omukyala asaana n’agikolamu ebibye ebimusanyusa.
Nnaabafumbo Birungi agamba nti era omwani n’omukyala bwe bakkiriziganya, tekiriimu buzibu kugabana buvunaanyizibwa.
Lwakuba abasajja abamu, bwe balaba ng’omukyala amuyambyeko anafuwa ne we yandibadde ateekeramu amaanyi, n’alekerera omukyala ekivaako abakyala okwetamwa. Birungi agamba nti kibi omusajja okugamba omukazi we amuwoleyo ku ssente, n’azimuwa ate n’agaana okuzimusasula.
Nnaabafumbo Birungi agamba nti omusajja bw’oba olinamu akasente akawera, mukyala wo ne bw’aba akola ssente ze tozibuulirizaako nnyo.
Muleke yeekolere by’ayagala nga naawe bw’otuukiriza obuvunaanyizibwa bwo
nga omusajja.
N’omukyala bw’olaba omwami wo talina kyokka nga mubeera mwembi, tewali nsonga ekugaana kwettikka buvunaanyizibwa bwe, nga bw’omusabira embeera etereere.
No Comment