"Obufumbo si bwangu naye bunyuma singa ofuna omuntu akwagala."

Mar 16, 2025

"Mpozzi n’ekirala, kinyuma nnyo okuyingira obufumbo ng’owezezza emyaka nga 28 ku 29 kuba obwongo bubeera bukuze ng’osobola okugumira ebisoomooza."

By Musasi Bukedde
Journalist @New Vision

Wadde onsedde naye onkubye ka ‘make-up’ akannyumidde...
Naye sikusedde, kimanye nti n’ebintu bye tukozesa bya buseere kuba twagala biri oligino, ebitaakose nsusu z’abantu.

Naye naawe, olabika bulungi! Oba kati ggwe ani akukuba ‘make-up’?
Bw’osalawo okuyiga bwe bakuba ‘make-up’, olina okusooka okwekolako era omusomesa wo bw’alaba nga weekozeeko n’onyirira, kiba kitegeeza osobola okukola ku muntu omulala naye n’anyirira.

 

Weeyanjulire abantu..
Nze Shabirah Namutebi, omukubi wa ‘make-up’ ow’akabi. Nsula Namasuba.

Omulimu gw’okukuba ‘makeup’ ogumazeemu bbanga ki?
Myaka etaano era omukyala ayitibwa Lairiz Touch ye yansomesa.

Ayagala okutandika bizinensi eno, ssente mmeka ezisembayo obutono z’asobola okutandika nazo?
Waakiri 1,500,000/- asobola okutandika nga tekuli za kupangisa kifo.

Kusoomoozebwa ki okuli mu mulimu guno?
Olumu bakasitoma bamanyi okubula era bw’oba tomanyi kwetunda, osanga okusoomoozebwa kw’okubeezaawo bizinensi.

Mmwe abakola ne ku bagole?
Abo oluusi, ebintu byabwe bwe bibula mu bisenge mwe tubakolerako, abamu babitubbisa nti ffe tuba twasigaddemu nga tubalinda okuddamu okubayooyoota.

Otyo...
N’abayimbi abamu bamanyi okutukozesa ne bamala ne beefuula n’atakusasula ssente ze mwalagaanye nga bw’akugamba nti agenda kukubira obulango, abantu bakumanye.

Ndoopera n’ebirala 
Waliwo n’abanyooma abakubi ba ‘makeup’ ng’amutunuddeko butunuzi, n’amulaba ng’omwana atagya mu ssente z’amusabye.

Buli gw’okolako ssente ziba ze zimu?
Nedda, ewange ‘makeup’ atandikirwako wa mitwalo 50,000/-, 80,000/- ne 100,000/-.Ku bagole, bbeeyi ebeera yaakuteesa kuba tubakolako emirundi egiwera ate buli lugoye lw’akyusa, obeera omukolako wa njawulo.

Eyakusiima ali atya?
Mulungi ebitagambika, mwebazabwebaza buli olukya okunjagala.

Omuwaanye!
Omwami wange oyo yanfuna ndi muto n’agumiikiriza ekyejo kyange.

Abawala abato abaagala okuyingira obufumbo bawe obubaka?
Obufumbo si bwangu naye bunyuma singa ofuna omuntu akwagala.

Bwebwo bwokka?
Mpozzi n’ekirala, kinyuma nnyo okuyingira obufumbo ng’owezezza emyaka nga 28 ku 29 kuba obwongo bubeera bukuze ng’osobola okugumira ebisoomooza.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});