Ssenga

Khalifa Mukasa abadde kafulu mu kukuba amataali aziikiddwa

ABASIRAAMU mu ggwanga bakungubagidde Khalifa Ahmed Mukasa abadde kafulu mu kuyimba ennyimba z’amataali.

Omugenzi Khalifa
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABASIRAAMU mu ggwanga bakungubagidde Khalifa Ahmed Mukasa abadde kafulu mu kuyimba ennyimba z’amataali.
Mu kumusaalira ku muzikiti e Kibuli, abakulembeze b’Obusiraamu ab’enjawulo batenderezza Khalifa Mukasa olw’ebitone ebitali bimu by’abadde nabyo nga muno mulimu okukuba amataali n’okuyiiya ennyimba eziwaana Nabbi Muhammad n’Obusiraamu.
Okumusaalira kwetabiddwaako ne jjajja w’Obusiraamu, Omulangira Kasim Nakibinge, Supreme Mufti Sheikh Muhammad Galabuzi eyagambye nti Obusiraamu buviiriddwaako omusajja abadde empagi luwaga ate ng’ayagala nnyo eddiini ye.
Mufti Galabuzi yategeezezza nti Khalifa yazuulwamu kkansa w’omu byenda era abasawo ne bakabatema nti yamusensera nnyo nga kizibu okumalako omwaka guno nga mulamu. Yamwogeddeko ng’omusajja abadde omwesimbu nti ne Sheikh Nuru Muzaata Batte bwe yafa, Khalifa yasigala addukannya ekibiina kyabwe ekitwala abalamazi e Mecca nti era tebafunangako muntu yenna yeemulugunya ku buweereza bwe.
Siraje Bbuule, mutabani w’omugenzi yasiimye Omulangira Kasima Nakibinge n’abakulira eddwaaliro ly’e Kibuli n’agamba nti bakoze kinene okujjanjaba kitaabwe okutuusa Mungu bwe yasazeewo amuwummuze.
Omugenzi yatandikawo ekibiina ky’amataali mu myaka gy’e 1990 era afulumizza ennyimba z’amataali nnyingi.
Yaziikiddwa eggulo e Namabo Butambala.