ABAAGALANA abamu, okunyumya akaboozi k’ekikulu batuusa luwalo ne batamanya birungi bye bafunamu. Okunoonyereza okwakolebwa abakugu kulaga nti, okunyumya
akaboozi tekukoma kukuwa buwi ssanyu nti mutuuse ku ntikko ne munyumirwa, wabula kujjirako n’ebirungi ebirala ntoko;
1. Okuwangaala: Okunoonyereza okwakolebwa kulaga nti okunyumya akaboozi, kufulumya obusimo obuziyiza omubiri okunafuwa, ne bufuula omutima okuba omulamu obulungi era emyaka gy’owangaala ne gyeyongera okusinga ku gye wandiwangadde nga teweegatta.
2. Okunyumya akaboozi waakiri ennaku bbiri mu wiiki, kwongeza ku kufulumya obungi bw’ekirungo kya Immunoglobulin A (IgA), ekisinga pathogens (agenti wa yinfekisoni). Immunoglobulin A aziyiza ssennyiga ne yinfekisoni endala. Abantu abanyumya akaboozi entakera, tebalwalalwala nga bwe bandibadde ssinga baba tebettanira kwegatta. Okunyumya akaboozi kuzimba obutoffaali bw’omubiri obulwanyisa endwadde ne kiyamba omubiri okulwanyisa yinfekisoni eziba zigulumbye.
3. Ofuna otulo otw’omuggundu. Mu kunyumya akaboozi, omubiri gufulumya
obusimo bwa oxytocin ne endorphins, nga buno bwe busimo bw’otulo, obukuyamba
okufuna amangu otulo era ne weebaka bulungi nga totaataaganyiziddwa.n
4. Kubeera nga kukola dduyiro era kukuumira omutima mu mbeera ennungi. Okunyumya akaboozi kwongera ku ntambuza y’omusaayi ne kikendeeza ku mikisa gy’okufuna endwadde
z’omutima.
5. Akaboozi kasaanuusa situleesi kubanga kafulumya obusimo bwa Oxytocin, Dopamine ne endorphins ne zeesogga obwongo. Kino kikendeeza okweraliikirira n’obeera mu ‘mmuudu’ ennungi era ne bikuwa okulowooza okulungi.