BANNANGE ebbeere liruma! Omusajja yannumye ebbeere olw’amaddu nga agenderera
okuliyonka, obulumi kata bunzite.
Wakati mu bulumi n’okusoberwa, natubidde mu birowoozo nga nneebuuza oba omusajja ono alimu obusezi? Ekisooka, engeri gye yazzeemu nga yenna akanudde amaaso, gamutunguse ate nga gengeredde, nayo yantiisizza. Kuno bwe yagasseeko okunnuma ebbeere, ne ndowooleza ddala nti nalumbiddwa omusezi emisana ttuku. Nneevuddemu omulundi gumu, ne mmusindika eri wakati mu busungu. Namubuuzizza oba aliko ekimutembye n’ava mu mbeera okunkolako effujjo.
Yassizza ekikkowe n’akkirira ku maviivi n’akkakkana. Mu bwetoowaze yanneetondedde n’ansaba mmusonyiwe kubanga nti naye ekikolwa kye yakoze tamanyi bwe kyazze.
“Sandra mukwano, nsaba onsonyiwe. Kino sikikolangako... Embeera eno tentuukangako. Amazima oli mulungi, oli muyonjo ate osaaliza. Nange simanyi kinsika kundeeta wonna w’oba oli naye munnange ndabira awo...” Bino yabyogedde atadde emikono gye ku bisambi byange nga yenna agonze okukirako akakira ka kkapa. Oluvannyuma yagudde mu ndyanga n’ankwanga akakadde ka ssente akalala!
Nasoose ne nkagaana nga ndaba omusajja ono asusse w’alina okukoma naye bwe namutunudde mu mmunye nga yenna atunula ‘mboneredde’, ne nzikwata. Olwankwasizza akavangata, n’afuluma era n’ang’amba nga bw’anninze ku mukolo
andabeko bwe nkoona ‘ddansi’. Ng’afulumye, nagenze mu ndabirwamu nneekebejje ebbeere eryalumiddwa. Wadde bampaana obulungi n’obuboobevu, naye Mukama yangonnomolako ebbeere amakula era abasajja libamiza amangota!
Nalikebedde ne nsanga nga lirungudde, lizimbye era ng’amannyo geerambye wonna we gaatuuse.
Naliweeweese nga ngezaako okukkakkanya obulumi naye nga nsiwa nsaano ku mazzi.
Nga nkyeweeweeta, omukyala eyabadde ankolako yayingidde kyokka yasanze ndi munyiikaavu n’ambuuza ogubadde. Namuzzeemu nti tewali buzibu era n’ankolako bulungi ne ntuukana buto n’omukolo gwaffe ogw’embaga. Obulumi bw’ebeer eryalumiddwa nabusibye ku mpagi ne nnyambala olugoye lwange olw’okusaliramu kkeeki era we nafulumidde ng’abandabako bampa kigalo n’okusitula ebisige.
Nagenze ne nkwatagana n’omugole ne tuddayo mu ‘hall’ era essaawa y’okusala kkeeki bwe yatuuse, byonna nabikwasaganyizza bulungi era nga tosobola kukimanya nti waliwo awannuma. Okumanya omusajja wa munnange ono ayitiriza okulookalooka, ne mu kaseera k’okusala kkeeki obwedda agira ne yebbirira era n’ankuba oluuso kyokka
nga nze nneebuzaabuza ne ntunula
eri. Oluvannyuma twagabudde abagenyi kkeeki eyabadde empoomu okukamala. Ekyaddiridde kwabadde kwogera okuva eri abaabadde ku mukolo n’okuva eri abagole era oluvannyuma amazina gagguddwaawo mu butongole.
Abagole baakoonye ddansi mu ngeri ey’ekiraavulaavu nga bwe babakuba ebifaananyi n’okubakubira akaluulu. Omuziki nange nagukoonye mu ngeri yange nga tumema ne ‘best man’ kyokka ng’omugole omusajja amaaso amaggula mamaggule.
Nnasanze akaseera akazibu omu- Ssenga Bukedde 11 Lwakubiri July 14, 2026 gole omukazi bwe yazze ne bba wendi nti banneebaze okucamula embaga olw’engeri gye nnannyumye n’okusala ddansi. Mumanyi omusajja okwebbirira ng’ali ne daalingi we n’atta ku liiso era ng’abasajja abenzi bwe beeyisa