ATANNAYITAAYITA y’atenda nnyina okufumba. Ate era ‘okutambula kulaba, okudda kunyumya.’ Nange ku wiikendi nnalabye amawano. Ku wiikendi nakedde kukunya buwale bwange obw’omunda n’obuleega era bwe nnabumalirizza ne nsalawo nsiibire ddala awaka.
Ekyemisana muwala wange yakifumbye bulungi anti yambooberezza olutooke kwe yakookedde amayuuni n’obubayi bwa muwogo nga buubwo. Kuno yateereddeko ekinyeebwa omwabadde ekyennyanja ekikalu kye yawadde obudde ne kikenenuka ne kabutto! Olwamazeokufumbya nga nzenna n’akatuuyo kanzise, naddukiddewo mu kinaabiro ne ngeeyiwako ne ng’enda ku buliri olwo ‘Tik-tok’ n’eramula. Kuno namazeeko ekiseera ekiwera kyokka akadde kaatuuse otulo ne tunziba.
Engeri gye nnabadde nnakkuse obulungi ate nga nawoomeddwa eddigobe, otulo ‘twansazeeko’ era nagenze okuwawamuka ng’obudde bukunidde. Mu kiseera ekyo nabadde saagala kulaba ttivvi, nga n’essimu nakooye okugitigiinya. Natudde ku buliri ne ndowooza bwe hhenda okutwaliriza obudde, ne nsalawo hhendeko mu sauna mbutwalirizeeko.
Nneerongoosezza ng’omukyala naye ne nneebuuza engeri gye hhenda okutambulamu kuba mmotoka yange eri mu galagi ate makanika yansuubizza kugimaliriza mu maaso awo. Nalowoozezza ku ky’okulinnya ttakisi ate ne nkikubamu ebituli olw’ebigambo bye mpulira mbu zaafuuka ganyegenya mbu era ziyuza n’engoye z’abasaabaze. Olaba nnina we nasomye nga bagamba ezimu zirimu ebiku! Ko nze Sandra waabwe, seeteekera. Kwe kusalawo nninnye bodaboda. Nga nneesuula mu ddene nnyimiriza owa booda eyabadde ayitawo era nga mmulagirira we ndaga. Twabadde twakavugako katono, ne tusangaomuvubuka naye eyayimirizza ppiki y’emu, owa boda n’ayimirira. Namugambye
nti mbadde saagala kungattako muntu kyokka yanzizeemu mu ngeri ekwasa ekisa nange ne mmuleka.
Yang’ambye: “Sister, amafuta gaalinnya, kati akasente kaakuyungirira. Mukkirize atuule tugende mpolampola mwana, bino bya nsi.” Nneeseetuddemu e nneeyongera mu maaso, mulenzi n’atuula emabega.
Osobola okubeera mu Uganda n’olowooza ogimanyi naye ng’ebigikolebwamu omanyiiko kagiiko ka sukaali.
Bodaboda yatambuddeko eddakiika nga ttaano, engeri obudde gye bwabadde butandise okukunira, omulenzi yakoze ebyantabudde omutwe. Teyankutteko wadde okung’amba ekigambo.
Yakutte ku ppiki n’atandika okunneekulukuunyaako ku ‘Nyashi! Nasoose ne nsiriikirira ne ndowooza oba akikola mu butali bugenderevu naye amazima mwanamulenzi
yakikoze awatali kusirisaamu.
Wakati mu kusoberwa, nalowoozezza nti oba mmugambeko, abiveeko? Oba ng’ambe owa boda ayimirire nveeko? Ne ndaba ng’ekifo we tuli kizibuzibu ne nnindirira kiddako!
Ekiseera kyatuuse nga okwekulukuunya kususse era mu ddakiika ng’emu omuvubuka yatandise okussa ennyo olwo n’ankwata okunyweza era mu kaseera mpa we kaaga n’adda mu kuboyaana. Obwongo bwadduse mangu okundaga nti omuvubuka yabadde amalamu kagoba. Tweyongeddeyo wano na wali n’agamba owa booda nti, “mu maaso awo” n’asasula n’agenda Tweyongeddeyo katono nange ne ntuuka we nnabadde ng’enda. Nagenze okwekwata ku Nyashi ng’omuvubuka antobezza emabega era ekyannyambye kimu, obudde bwabadde bwa kiro