Ssenga

Abalenzi mwegendereze abawala be muganza nga temumanyi bibakwatako

OMWANA wa bandi gw’obeera naye nga tomanyi bantu be, obeera naye otya? Ate muwala muto kuba wa myaka 17 era eyeesalirawo. Mu mateeka, bwe bakukwata n’omuwala ataweza myaka 18 guba musango.

ssenga wa Bukedde
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMWANA wa bandi gw’obeera naye nga tomanyi bantu be, obeera naye otya? Ate muwala muto kuba wa myaka 17 era eyeesalirawo. Mu mateeka, bwe bakukwata n’omuwala ataweza myaka 18 guba musango.
Mulonda abawala abato nga temumanyi naye muba mufuuse bazadde baabwe. Era omuwala oyo by’akola, tali yekka era singa afuna obuzibu, basobola okukusiba. Abawala bwe batyo akugamba alinayo muganda we naye nga taliiyo. Abeera ayagala okufuna w’abeera ate naawe oyagala omuntu anaakuyamba awaka afuuke mukyala ng’osirika n’omuwala wa bandi. Omaze n’omuwala ono emyaka ebiri naye tomanyi bantu be. Omuwala yakulimba nti Muganda naye nga Mulundi Abalundi bangi mu  Kampala era abasinga bajja banoonya bubudamo era ensi yaffe ebalinako obuyinza.

Abamu bwe bava mu nkambi banoonya eby’okukola abalala ne banoonya obufumbo era bayiga Oluganda. Kati embeera ey’okunoonya ‘address’ ya bulijjo era abawala bangi banoonya ssente za lenti ne zibula.
Kati bw’afuna amwagala nga naye yeetereza afune w’abeera. Naye ebiddirira bibeera birala. Kati omuwala omulabye alabika mulalu, ogenda kukola otya?
Bw’omutwala e Butabika balina okubuuza ani agenda okumubeerako oba amuvunaayizibwako.
Baana bange mwegendereze abakyala era n’abawala ennaku zino abanoonya aw’okubeera.
Abawala oba abakyala bano tebatera kukulembeza ssente ate baagala nnyo okumanya w’obeera era bw’atuuka alina okukola buli kalimu, akusanyuse n’olowooza ofunye omukyala omutuufu. Tomanya bantu baabwe era kuba akulabirira bulungi, oziba amaaso ekivaamu ng’asimba amakanda. Ogenda okulowooza okumweggyako nga tokyasobola. Bamanyi n’okuteekawo emisango nti wamuwamba. Bavubuka, mwewale abakyala n’abawala be mutamanyi bulungi. Tomala gasembeza buli muntu mu maka go. Abamu ba bizibu era oyo ogenda kumwekuuliramu ‘Mulago’. Nammwe abawala olina okwebuuza oba oyo gw’oyita mukwano gwo omumanyi bulungi.

Tags: