Abafumbo abamu baba n’ebyekwaso eby’obutanyeenya kitanda. Mucunguzi agamba nti waliwo bye balina okukola, bibasobozese okukinyeenya.
Ebimu ku byo byebino;
Owunya bulungi, omubiri gunyirira?
Munno asobola okukutunulako obutunuzi, n’asabbalala ekiddirira kiba kunyeenya kitanda.
Okwekuuma ng’oli mulamu kikulu kuba n’akaboozi tekanyumira balwadde.
Mubeere bayiiya mu kisenge era buli omu abeeko ky’assaamu okusanyusa munne.