Ssenga

Biki ebireetera ekitanda obutanyeenyezebwa?

1. Abakyala abamu abafumbo, baatandika enkola y’okuguza ba bbaabwe akaboozi mu nkola ya; ‘mpa nkuwe’ olwo omusajja lw’aba talinaamu, tebamukombya n’ekitanda kiba tekijja kwenyeenya.

Abaagalana mu ssanyu.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

1. Abakyala abamu abafumbo, baatandika enkola y’okuguza ba bbaabwe akaboozi mu nkola ya; ‘mpa nkuwe’ olwo omusajja lw’aba talinaamu, tebamukombya n’ekitanda kiba tekijja kwenyeenya.
2.Okutwala obusungu mu kisenge n’okwagala okwesasuza: Abakyala abamu, balina enjogera egamba nti; omukadde akwasizza ku mmere ye ng’olwo omusajja alina kye yamunyiizizza n’amulinda mu kisenge, obutamukombya ku kyakulya kyokka nga kino

bakikola mu butamanya.
3. Abamu basuulirira okunyeenya ekitanda olw’obutamanya birungi bikirimu. Abamu baba tebaafuna kubuulirirwa nti obufumbo butandikira mu kisenge ng’ebikolebwayo bwe biba bya ssanyu, n’amaka gaba mu ssanyu.
4. Okulabankana ebbali olwo awaka n’otwala tulo era waliwo abagamba nti ebyamaguzi bingi ku katale, bwe badaazibwa awaka nga bakyama ebbali.
4. Obulamu bw’okutawuka n’okunoonya ssente, buviirako abafumbo abamu okusuulirira ekitanda.
5. Essimu eyawudde abafumbo nga bali omu anoonya bimunyumira ku mutimbagano.

Tags: