Ssenga

By'olina okukola okunyeenya ekitanda buli lunaku

Abafumbo abamu baba n’ebyekwaso eby’obutanyeenya kitanda. Mucunguzi agamba nti waliwo bye balina okukola, bibasobozese okukinyeenya.

Abaagalana mu kitanda.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Abafumbo abamu baba n’ebyekwaso eby’obutanyeenya kitanda. Mucunguzi agamba nti waliwo bye balina okukola, bibasobozese okukinyeenya.
Ebimu ku byo byebino;

Obuyonjo kikulu: Ekisenge mukinyirize era mukitegeke. Bw’ova ku kisenge, weetunuliremu oba oli muyonjo.

Owunya bulungi, omubiri gunyirira?
Munno asobola okukutunulako obutunuzi, n’asabbalala ekiddirira kiba kunyeenya kitanda.

l Beera mwetegefu okugabula munno kuba ne Bayibuli mu Bakolinso 7:5, ekyogerako.

Okwekuuma ng’oli mulamu kikulu kuba n’akaboozi tekanyumira balwadde.

Mubeere bayiiya mu kisenge era buli omu abeeko ky’assaamu okusanyusa munne.

Tags: