“Ekintu ky’olina lwaki okigaya, nga kyonna okizannyisa, era okigalabanja, kimala kukuvaako olwo n’ozuukuka, emirundi egisinga nga tekikyadda nate..”Eyo vaasi, mu luyimba lwa Jimmy Katumba.
Nnina munnange omu, oluyimba luno gwe lwatuukiddeko olw’okugalabanja omusajja we ne yeesulamu jjulume n’asibako engugu ye n’agikuba mu bazadde. Bwe yali afuluma amaka ge teyasooka kuntegeeza wabula nalaba kasimu ng’antegeeza nga bw’ali ku ggeeti mmugulire alina by’ayagala okung’amba.
Namuggulira kyokka ennyumba yagiyingira amaanyuuka bumaanyuusi. Namubuuza ogubadde n’antegeeza ng’obufumbo bwe bumutamye era ‘ekisajja’ akireseewo mbu kyetaaye ne malaaya zaakyo.
“Sandra, abasajja bamanyiira! Omusajja adda matumbi, tampa kitiibwa era tandabawo. Bwe mmunenyaako ku ky’okudda ekikeerezi ang’amba aba akyamaliriza mirimu gye. Kyokka waliwo eyanzibiddeko nti alina ekijuujulu ky’apepeya nakyo. Kang’ende ewa mmange nneesonyiwe omusajja...” Wano we namusalira ekimuli ne mmubuuza oba omusajja gw’addukako abadde tamulabirira bulungi awaka.
Yanziramu nti obuvunaanyizibwa bwe bwonna abutuukiriza naye ye tagenda kugumira
bwenzi. Ne mmugamba teri musajja atayenda, ekikulu kasita awaka abalabirira bulungi ate n’omukazi gw’omulumiriza tamukulagangako.
Byonna nnabyogera kyokka nga nfuuyira ndiga mulere. Kyaddaaki yansiibula n’antegeeza ng’abaana bw’alina w’abalese nti, ayagala abaddukire nga bukyali yeeyune mu bazadde.
Yansiibula n’agenda naye eky’okunoba namulaga nti sikisemba. Yabeerayo ekiseera nga tuwuliziganya n’antegeeza nga bwe bali mu mbeera ennungi ye n’abaana. Era nti, musajja yabasindikiranga obuyambi n’okumuweereza bumesegi ng’amusaba akomewo mu maka ge.
Ebyo bwe yabing’ambanga nga mmubuuza lwaki tadda mu maka ge n’atuula? Namubuulirira addeyo mu ddya ne mmugamba eky’obwenzi layisi, ajja kukigumira mpola. Kwe kung’amba nti ye tasobola kudda mu maka ng’omusajja teyeesitudde kugenda waabwe, amwetondere era amuteekeko obukwakkulizo ku ky’okuddanga awaka ekikeerezi.
Namugamba nti ekyo abasajja abasobola okukikola batono naye bw’aba aweereza obubaka obulaga nti akyakwetaaga, oli wa mukisa. Ko ye nti, omusajja bw’atamunona, tadda mu ddya. Ekiseera kyatuuka omusajja n’amuweereza obubaka nti, ‘ogaanye okudda naye kyonna ekituukawo tonnenyanga!’ Kamesegi kano yakampeerezaako ne mmugamba kati ebiddako weenenyanga wekka naye yabiyita bya lubalaato era yakulungula emyezi esatu ng’ali mu ddoyiddyi. Wakati mu kulekawo ggaapu, waliwo eyamukubira akasimu n’amutegeeza nga bwe yalabye bba ng’apepeya n’ekijuujulu kye yayise ‘stock empya’ era oluusi bava bonna awaka. Oli yamutegeezezza nti omuwala mubalagavu ate awa omusajja ‘care’.
Yazzeeyo gye yanoba nga talaba maaso na mabega, ne yeesogga ggeeti gye yasanze nga n’omukuumi yakyusibwa! Olwamulamusizza n’ayingira ekikomera, kyamubuuseeko okusan- ga ng’ekkufulu z’ennyumba zaakyusibwa dda. Omukuumi yakubidde ‘Boss’ essimu n’amutegeeza nga bwe balina omugenyi n’amumuwa ku ssimu kyokka omusajja yabuulizzaawo omukyala ky’ayagala. Omukyala yamuzzeemu nga bw’akomyewo
okufumba. Omusajja yamuzzeemu kimu, “Nze nakyusa dda timing belt! Nakwekubako n’onsenza oluti, ne nfuna omukyala omulala.” Kati munnange yaddukidde eno ampeeka tugende twegayirire bba, amusonyiwe amuzze mu maka.