OBUFUMBO obumu busaanawo si lwakuba nti waliwo ensobi ennene ezikoleddwa, wabula lwa bintu ebitono abaagalana bye babuusa amaaso.
Okulemwa okuwuliziganya, okugalabanja munno n’ebirala bye bimu ku bisobola okutta obufumbo ng’abaagalana tebategedde. Amaka agamu, omu ku baagalana mu butamanya asobola okweyisa mu ngeri erumya munne mu butali bugenderevu era ne kitattana obufumbo bwabwe.
Ekyewuunyisa, ate ebintu abafumbo bye bakola mu bugenderevu bw’okulumya tebireetawo buzibu bunene kwenkana bye bakola nga tebabigenderedde wadde nga byombi, bya bulabe.
Rebecca Naluyima, omukugu mu kubuulirira abafumbo okuva e Wakiso, agamba nti abafumbo abamu bafuna okutabuka mu maka gaabwe si lwakuba tebaagalana, naye baba balemeddwa okuzuula ebintu bye bakola mu ngeri gye bawangaalamu ne bannaabwe ate ebikosa bannaabwe.
Okusinziira ku Naluyima, okutegeera enjawulo wakati w’ekigendererwa ng’okola ekintu ne kye kirekawo oluvannyuma lw’okukikola musingi mulungi mu kuzimba omukwano oguggumidde.
“Oluusi, munno ayinza okukola ekintu mu butamanya nti kiruma. Ng’akiraba kya bulijjo olw’ensonga nti bw’atyo bwe yakuzibwa oba ky’akuze amanyidde. Kyokka wadde bw’obeera wakuzibwa, enneeyisa eyo bw’eba ekosa munno, oba olina okukyusaamu,” Naluyima bw’agamba era n’awa ebimu ku bitta obufumbo ng’oluusi bikolebwa mu butamanya;
1. Okugeraageranya omwagalwa wo ku balala: Ebigambo nti; ‘Lwaki toba ng’omwami wa gundi?’ oba ‘Bakazi banno bakola bino okusinga ggwe’. Biwulikika ng’ebitono naye omwagalwa wo bimunafuya. Naluyima awabula nti buli maka galina ebigasoomooza ate ekikola ew’omu, teriba tteeka nti kirina okukola ewuwo era biyinza okunyiiza omwagalwa wo2. Obutabaawo bwa mpuliziganya:
Ogumu ku mize egisinga okutaagula omukwano oba obufumbo bwe butaba na mpuliziganya nnungi. Abaagalana abamu basalawo kusirika mu bunyiivu, abalala basalawo okwogerera waggulu oba okuyomba nga tebalina kye bannyonnyodde. Obutakkaanya obutono bwe bukwatibwa obubi ate akabadde akasonga akatono kazimbulukuka n’efuuka ennene. Naluyima awabula abaagalana okuyiga okuwuliziganya mu ngeri y’obukkakkamu mu kifo ky’okusuubira nti abaagalwa baabwe bajja kuteebereza ebitatambula bulungi nga tebabyogedde.
3 Okutwala omwagalwa wo ng’ekyokugalabanja: Mu ntandika, abaagalana bafuba okukola byonna ebisanyusa bannaabwe. Bakuba amasimu, basindika obubaka bwa mesegi, era balaga bwe bawulira obulungi eri abaagalwa baabwe n’okuwaayo obudde. Naye omukwano gye gukoma okukula, abamu batandika okugulaba ng’ekya bulijjo. Ebintu ebitono nga weebale,okubuuza omwagalwa wo olunaku bwe lugenze, okubasiima biggwaawo. Naluyima agamba, okusiima tekiteekwa kukoma ng’abafumbo baakeefuna wabula kirina kubeera kya lubeerera nga bwe wakikolanga mu ntandikwa, munno aleme kuggwaamu maanyi bw’abaako ky’akugabidde.
4. Okuyingiza ab’ebbali mu by’amaka gammwe:Wadde okwebuuza okuwabulwa kulungi, naye okwebuuza buli lwe mufunye obutakkaanya ate kiteeka omukwano gwammwe mu katyabaga. Naluyima akubiriza abaagalana okubeera nga balina we bakoma, okuyingiza ab’ehhanda n’emikwano mu mukwano gwabwe.
Agamba abaagalana balina okwerwanako okutereeza obusongasonga obuzze wakati waabwe nga tebabiyingizzaamu muntu waakusatu.
5. Okubuusa amaaso obwetaavu bw’omunda: Abasajja abamu balowooza nti bw’atuukiriza obuvunaanyizibwa awaka, nti kiba kimala. Obuvunaanyizibwa kikulu naye ne munno okumatizibwa munda kyamugaso.
6. Ebintu omukazi bye yandyekoledde, n’abirekera omukozi w’awaka okubikola: Omukazi bw’oba ggwe wali ofumbira omwami, ggwe omujjulira, engoye ozigolola naye n’otuuka ekiseera ng’omukozi abayambako awaka, y’akola buli kimu n’atuuka okusalawo n’engoye ezinyumira omwami we. Omusajja bw’alaba ng’okusalawo kw’omukozi kumukolera, ayinza okukendeeza omukwano gw’awa mukyala we.
7. Effuga bbi, okuva ku njuyi zombi: Kituufu atawubira nsiko ye taliira, naye waliwo bwe kifuuka effuga bbi. Oluusi kino kiyinza okuba ng’omwami ky’ayogera tekiddibwamu, olwo omukazi ne yeetamwa. Ate era eriyo n’abakazi, abafugiriza abasajja ne batuuka n’okukiraga mu bantu. Bino munno atuuka n’abikoowa.
8. Ttivvi y’omu kisenge. Ensi gy’ekomye okukula n’ebintu ebimu gye bikomye okwonooneka.
TV y’omu kisenge nnungi naye bw’ogikozesa obubi eyonoona amaka nga totegedde. Singa omu kubaagalana alemerako ku yo okugiraba buli kadde n’obudde obwandibadde
obwa munne ne bubula omanya obuzibu buzze.
9. Bwe mutakwata bulungi nsonga y’abaana n’abazukulu. Kino ku bafumbo abakulanye, abazzukulu okusula mu kisenge ky’abakulu, kiremesa abaagalana
okwetaaya. 10. Essimu: Obutava ku ssimu kifuuse ekizibu era abamu kwe bamalira obudde ne beerabira bannaabwe, bwe bali mu mwaka. Ebirala mulimu; Okulimbalimba n’obwenz,Omusajja okubeera n’omukazi emyaka emingi, n’atafaayo kugenda kumwanjula mu butongole, obutawagira munno by’akola kimumalamu amaanyi n’ebirala