Ffamire z’aba UPDF abattiddwa e Somalia zigenda kuliyirirwa

Abengna z’abajaasi ba UPDF 54 abattiddwa e Somalia nga bwe balindiridde okukwasibwa emirambo gy’abantu baabwe, enteekateeka zitandise okukolebwa buli ffamire okuliyirirwa ssente ezakkaanyizibwako mu ndagaano Uganda mwe yatwalira amagye e Somalia.

Omwogezi w'amagye Felix Kulaigye ne Lt.Gen.Kayanja ali e Somalia
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Abengna z’abajaasi ba UPDF 54 abattiddwa e Somalia nga bwe balindiridde okukwasibwa emirambo gy’abantu baabwe, enteekateeka zitandise okukolebwa buli ffamire okuliyirirwa ssente ezakkaanyizibwako mu ndagaano Uganda mwe yatwalira amagye e Somalia.
Endagaano eno eyakolebwa wakati wa Uganda n’omukago gwa African Union (AU) eraga nti buli ggwanga eryasindika amagye e Somalia irina omutemwa gwa ssente
ezirina okubaweebwa.
Buli mujaasi w’eggwanga lya Uganda, Burundi, Djibouti, Ethiopia oba Kenya afiira mu ddwaaniro ffamire erina okuliyirirwa ddoola za America 50,000 (mu za Uganda
obukadde 185).
Endagaano ezaakolebwa ziraga nti buli mujaasi afunira mu ddwaaniro obuvune bamuliyirira ddoola 10,000 (eza Uganda 37,000,000/-).
Omukago gwa Bulaaya ogwa European Union gwe gulina okuwaayo ssente zino nga bayita mu kitongole kya African Peace Facility.
Kiddiridde abatujju ba Al Shabaab okuzinduukiriza enkambi y’amagye ga UPDF e Somalia nga May 26, ne batta abajaasi 54.
Ensonda zaategeezezza nti amagye gaamaze okutegeeza ffamire z’abantu abattiddwa e Somalia era balindiridde kukomyawo mirambo gyabwe.
Omwogezi wa UPDF, Brig. Felix Kulaigye yagambye nti entegeka z’okukomyawo emirambo gy’aba UPDF zikolebwa era gijja kukomawo ekiseera kyonna.
Col. Deo Akiiki amyuka omwogezi wa UPDF yagambye nti omukago gwa African Union amagye ga UPDF mwe gaweerereza mu ggye lya AMISOM be bajja okukola ku by’okuliyirira ffamire z’abagenzi.
Ensonda zaategeezezza wakati wa August wa 2009 ne September wa 2012 eggye lya AMISON lyakosebwa n’abajaasi 439 ng’abamu baafa n’abalala okufuna obuvune, abajaasi 22 mu 2009 ne 59 mu 2010.
Okuva mu August wa 2009 okutuuka mu September wa 2012, omukago gwa Bulaaya gwasasaanya ddoola za America 27,729,000 ku bajaasi abattibwa n’abaafuna ebisago.
Eky’okutta abajaasi ba UPDF, Pulezidenti Museveni yakitadde ku bikolwa by’okulya enguzi ekyatuusa n’okufuula omujaasi eyalina okuddukanya edduuka ly’amagye okumufuula omuduumizi n’agamba nti birina okukomezebwa.
Yagambye nti amagye ga UPDF gaasobodde okwetereeza ne gaddamu okwamba enkambi ye Buulo Mareer. Yagyogedde ku Lt. Col. Edward Nyororo ng’omu ku
battiddwa.
Waliwo abajaasi ba UPDF babiri abaakwatiddwa okuli; Maj. Oluka ne Maj. Obbo nga babalumiriza okulagira abajaasi okudduka nga balumbiddwa abatujju ba Al Shabaab. Ekiseera kyonna bagenda kutwalibwa mu kkooti y’amagye bavunaanibwe. Mu kiseera kino omuduumizi w’amagye ga UPDF ag’oku ttaka, Lt. Gen. Muhanga Kayanja ali Somalia mu ddwaaniro okwetegereza ewaavudde obuzibu.