Kkooti ezzeemu okuwulira ogwa Kirabo eyali yatolokera e Kenya ; avunaanibwa okutta omuyizi w'e Makerere eyali muganzi we
Sep 15, 2023
Ono yakwatiddwa poliisi y’ensi yonna ku Lwokubiri lwa wiiki eno bwe yabadde mu ggwanga ery’e Kenya era n’akomezebwaawo ku butaka addemu awerennembe n’omusango gwe.

NewVision Reporter
@NewVision
Kkooti enkulu ey’e Mukono ezzeemu okuwulira omusango oguvunaanibwa Dr. Mathew Kirabo, avunaanibwa ogw’okutta eyali muganzi we Desire Mirembe bwe baali basoma bonna obusawo mu ttendekero e Makerere mu 2015, omulambo gwe n’agusuula mu ssamba ly’ebikajjo e Lugazi.
Maama Wa Kirabo Bw'abadde awereekereza Bannamawulire Ebisongovu.
Ono yakwatiddwa poliisi y’ensi yonna ku Lwokubiri lwa wiiki eno bwe yabadde mu ggwanga ery’e Kenya era n’akomezebwaawo ku butaka addemu awerennembe n’omusango gwe.
Omulamuzi wa kooti enkulu ey’e Mukono David Matovu, leero azzeemu okuwulira omusango gwa Kirabo eyamusindise obutereevu mu kkomera e Luzira.
Matovu ategeezezza nga bw’agenda okusooka okuwuliziganya n’omulamuzi eyasooka mu musango guno, Henry kaweesa nga kw’ogasse n’omuwaabi wa gavumenti eyagulimu Happiness Ayinebyoona okulaba bwe bayinza okuddamu okuwulira omusango guno n’okuwa kirabo ekibonerezo ekimugwanidde.
Annyonnyodde ng’omusango gwe bwe gugenda okuddamu okuwulirwa mu bbanga eritali lya wala era tawadde lunaku.
Abooluganda Lwa Mirembe Bwe Baali Ku Kooti Gye Buvuddeko.
Wakati mu bukuumi obw’amaanyi kirabo ng’afuluma kkooti, ab’oluganda lwa kirabo abakulembeddwa nnyina baakoze effujjo ku bannamawulire bwe baabadde bagezaako okubalemesa okukwata ebibadde bigenda mu maaso nga kwe bagasse n’okubawereekereza ebisongovu.
Omulwanirizi w’eddembe era munnakibiina kya Sisimuka Uganda Frank Gashumba akalaatidde ab’ebyokwerinda ku mulundi guno obutakkiriza Kirabo kweyimirirwa ate era avunaanibwe mu mateeka asobole okukola ng’eky’okulabirako eri abavubuka abalala abayinza okwagala okutirimbula bannaabwe mu ngeri ng’eno.
Desire Mirembe Eyattibwa Nga Bwe Yali Afaanana. (1)
Asiimye poliisi y’ensi yonna olw’okukola kyonna ekisoboka okulaba ng’akwatibwa. Kirabo ajjukirwa okuwuniikiriza kkooti bwe yakkiriza okwekobaana mu ttemu eryakolebwa ku muwala Desire Mirembe.
Yategeeza omulamuzi nga bwe yamuyambako okweggya mu bulamu bw’ensi olw’obulumi bwe yalimu, oluvannyuma lw’okwesala akaso ku bulago ku musuwa ogutambuza omusaayi okuva ku mutima n’ebitundu by’omubiri eby’enjawulo.
No Comment