Omuyizi agambibwa okuba amabega w'okuwamba abantu 170 n'abakuumira mu nju ng'abasuubiza emirimu e Kenya akwatiddwa
Sep 25, 2023
OMUYIZI w'essomero agambibwa okubeera amabega w'okuwamba abantu 170 n'abakuumira mu nnyumba emu e Kakiri Wakiso ng'abasuubiza emirimu e Kenya, akwatiddwa poliisi.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Godfrey Kigobero
OMUYIZI w'essomero agambibwa okubeera amabega w'okuwamba abantu 170 n'abakuumira mu nnyumba emu e Kakiri Wakiso ng'abasuubiza emirimu e Kenya, akwatiddwa poliisi.
Okukwatibwa kw'omuyizi, William Kigyenyi 17 owa S3 mu Kapeeka Senior Secondary School, kiridde poliisi e Kakiri okukwata omukyala Harriet Nassuuna 28 agambibwa okuba nti baamusanga n'abavubuka 170 mu nnyumba emu e Nampunge e Kakiri mu Wakiso omwezi oguwedde.
Kigambibwa nti Nassuuna yalaajanira poliisi, nga Mugyenyi bwe yali mu lukwe, lw'okumutuma abavubuka bano, abatwale e Kenya mu kkampuni ya Hambo abafunire emirimu egy'enjawulo omuli okukola mu super market , okupakira kaawa, okuweereza mu bbaala n'ebirala.
Abavubuka bano bonna , baatwalibwa ku poliisi e Kakiri gye baabagirako sitatimenti nti n'oluvannyuma ne babalagira okudda ewaabwe ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga, agambye nti Mugyenyi, bamugguddeko emisango 170 , ng'okubuuliriza kukolebwa.
Enanga agambye era nga poliisi y'e Kawempe bw'ekutte Brenda Nantale 21 ne Lawrence Sewamala 27 abe Erisa e Kyebando, nga kigambibwa nti babadde baakukusa abaana abawala 10, be babadde bakozesa okukwata obutambi obw'ebuseegu ne babusaasaanya era nga ne mukama waabwe Arinaitwe eyadduse naye bamuyigga.
No Comment