NUP baguze emijoozi gy’emisinde gya Kabaka gya bukadde 21; Mayiga abawabudde
Mar 28, 2024
KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga awadde bannakibiina kya NUP amagezi okuyiga okugumiikiriziganya, okuwang’ana ekitiibwa n’okwogerezeganya.
By Dickson Kulumba
Journalist @New Vision
KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga awadde bannakibiina kya NUP amagezi okuyiga okugumiikiriziganya, okuwang’ana ekitiibwa n’okwogerezeganya.
Awabudde nti bwe batabiyiga nga tebannagenda mu buyinza, kijja kubeera kizibu okukyusa.
Katikkiro Charles Peter Mayiga Ng’akwasa Joel Ssenyonyi Ne Lewis Rubongoya Emijoozi.
Mayiga yagambye nti buli asobya tebatta mutte wabula kiba kirungi ayitibwe mutuule era mwogere n’ekigendererwa ky’okulaba engeri gy’ayinza okugololwamu okudda ku mulamwa gw’ekibiina.
Yagambye nti, ebyobufuzi bikulu nnyo mu ntambuza y’eggwanga nga kyetaaga ababizannya okubeera abantu abakimanyi so si bakazannyirizi era n’awabula aba NUP okutwala eky’okukuuma n’okutumbula eddembe ly’obuntu nga ekikulu.
Katikkiro okwogera bino, yabadde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu bwe yakyazizza abamu ku bakulembeze mu kibiina kya NUP abaakulembeddwa akulira oludda oluwabula gavumenti mu Palamenti, Joel Ssenyonyi.
Yabagambye nti bwe banadda mu kuvumagana, ekinaddako kwegwa mu bulago kikose ekibiina. ‘’Bwe muneemanyiiza okwevuma, ekinaddako kwegwa mu bulago. Ate bwe muneegwa mu bulago nga tebibalemye? Anti agabwa ageerwanyalwanya (gabeera gaagala kulya nnyinimu),” Mayiga bwe yayongedde okuwabula.
Aba NUP baagenze e Mmengo okugula emijoozi gy’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka egigenda okubaawo nga April 7, 2024.
Ssenyonyi yeebazizza Katikkiro olw’okufissa akadde okubasisinkana era n’amutegeeza nti bbo ensonga yonna Kabaka gy’abeera awomyeemu omutwe beetegefu okugitwala mu maaso. Baaguze emijoozi gya bukadde 21.
No Comment