Omukulembeze w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni alabudde bannabyabufuzi abooludda oluwabula gavumenti okukomya okubungeesa ebigambo nga gavumenti ya NRM bw’ebba ettaka mu Buganda. Abadde mu lukungaana lwa bannamawulire lw'atuuzizza mu maka ge e Nakasero mu kiro ekikeesezza olwaleero.