Fr. Galiwango eyagenze mu maka ga Kato Lubwama n’asomerayo mmisa n’okusembeza abantu bimwonoonekedde

Ponsiano Nsimbi
Journalist @Bukedde
Jun 09, 2023

Rev. Fr. Robert Galiwango ow’ekigo kya St. Cyprian Kawanda eyagenze mu maka ga Kato Lubwama nasomerayo mmisa n’okusembeza abantu bimwonoonekedde.

Cansala w’Essaza ekkulu erya Kampala, Rev. Fr. Dr. Pius Male Ssentumbwe ategeezezza nti ekyakoleddwa Fr. Galiwango kikontana n’amateeka g’Eklezia  kubanga teyafunye lukusa okuva ewa bwannamukulu w’ekigo kya St. Gyaviira Bunnamwaya amaka ga Kato mwe gasangibwa. Yayongeddeko nti kikontana n’enjigiriza y’Eklezia okusoma  mmisa mu maka g’omuntu eyavaayo mu lwatu nalangirira nti musamize 

Fr. Galiwango okutuuka ku kino kiddiridde aba famire ya Kato ne mikwano gye okumumatiza nti buli kimu bakitereezezza oluvannyuma lw’abantu bano okutuukirira bannaddiini ab’enjawulo ne batayambibwa. Mu mmisa eno eyasomeddwa ku Lwokuna ekawungeezi, omubaka wa Kalungu West Joseph Gonzaga Ssewungo ye yakoze ng’omuweereza.

Nnamwandu ne bamulekwa ba Kato Lubwama

Nnamwandu ne bamulekwa ba Kato Lubwama

Fr. Galiwango bwe yatuukiriddwa yategeezezza nti yakizudde nti baamutomezza kubanga abaamuyise tebaayise mu makubo matuufu ne yeetondera Eklezia olw’ekikolwa kino. Yagambye nti Ssaabakristu ebbaluwa eyamuweereddwa nga tannatandika kusoma mmisa yabadde ewandiikiddwa Joseph Mayanja Babumba Ssaabakristu wa kabondo ka St. Lwanga omusangibwa amaka ga Kato. Era olw’obutamatira bulungi yadde yasanze buli kimu kyabadde kitegekeddwa teyatandikiddewo mmisa ng’alinda ebbaluwa okuva ewa bwannamukulu oluvannyuma lwokukuba essimu ze nga tazikwata.

Wakati mu kulindirira mmisa, yasabye omubaka Ssewungo okukulembera mirembe Maria 20 nga bwe balindirira era mu kasera ako buli muntu yabadde yeebuza ekigenda okuddako.

Yategeezezza nti yabadde agaanye okusoma mmisa okutuusa Ssaabakristu w’ekisomesa bwe yamukakasizza ng’ensonga bwe zaakoleddwako era mmisa yetabiddwamu n’omuseminaliyo okuva ku kigo kye Bunnamwaya ekyayongedde okumugumya.

Omuyimbi Rema Namakula ne banne mu lumbe lwa Kato Lubwama

Omuyimbi Rema Namakula ne banne mu lumbe lwa Kato Lubwama

Mu mateeka g’Eklezia faaza yenna okugenda mu kigo ekirala okusomayo mmisa alina okutegeezaako ku bwannamukulu w’ekigo ekyo kyokka Fr.Galiwango agamba nti yafubye okunoonya bwannamukulu ku ssimu ze natamufuna ne bafaaza baakola nabo ekyamuwaliriza okujja asome mmisa kubanga omuntu eyabadde amukubidde bamanyiganye era teyategedde nti amaka gajjamu galimu ebikontana n’entereza y’Eklezia.

Wadde ssentebe w’olukiiko oluteekateeka okukungubagira n’okuziika Kato Lubwama, omubaka Muhamad Nsereko yabadde asabye Fr. Galiwango  okuddayo abawe mmisa ku Lwomukaaga ng’omulambo guleeteddwa  kyokka yagambye nti takyasobola kudda mu maka gano kusomeramu mmisa.

Bwe yabuuziddwa ekyamuwaliriza okuva e Kawanda okujja e Mutundwe yategeezezza nti Joy Matovu mukwano gwe era ye yamukubidde essimu ng’amusaba okujja abayambe asomere omuntu waabwe mmisa.

Wabula yagambye nti wadde kino kyatuuseewo, amateeka g’Klezia agamanyi bulungi era bakama be kye bayimiriddeko naye kyalina okutambulirako lwakuba baamusudde mu katego.

Matovu Joy eyakulembeddemu enteekateeka z’okuperereza Fr. Galiwango yategeezezza nti Kato Lubwama abadde munnakatemba era ebintu bye ebisinga bibaddemu katemba nga kizibu okutwala ebigambo byabadde ayogera nti musamize nti bituufu.

 

Yagambye nti wadde ebigo ebiriraanye amaka ga Kato birimu ba faaza naye yayise Fr.Galiwango kubanga muto we ate mukwano gwe wabula nga  ku Lwomukaaga ng’omulambo gutuuse bwannamukulu we Bunnamwaya Fr.Francis Ssemuddu gwe basuubira okukulemberamu mmisa.

Abagamba nti Kato Lubwama abadde musamize simanyi gye babijja kubanga tewali mukulembeze w’abasamize  n’omu okuli: Maama Fiina, Ali Gaweesa ne Ssenga Kulannama eyavuddeyo okukaayanira Kato nti abadde mugoberezi we.

Yagambye nti Fr. Galiwango okutandika mmisa baasoose kumulaga bbaluwa eyavudde ewa bwannamukulu ne ssaabakritu wa kabondo ka St. Charles LwangaJoseph Mayanja Babumba gye yawandiikira Ssaabakristu w’ekisomesa n’omusemesa ba St.Kizito Kisigula nga basaba okusabira Kato Lubwama mmisa.

Ebbaluwa endala  yawandikiddwa bwannamukulu we Bunnamwaya Fr.Francis Ssemuddu nga June 7,2023 kyokka wadde eno yatereddwaako sitampu teyataddeko mukono gwe. Eno yagiwandiikidde bwannamukulu we Lubaga n’ateereko n’ebbaluwa eyavudde mu kabondo ng’asaba bakkirize okuziika Kato Lubwamu mu nkola y’Eklezia.

 Mu Bukedde w’Olwokutaano, Cansala w’Essaza ekkulu erya Kampala  Fr.Dr. Male yategeezezza nti bwannamukulu bwabeera ng’alina ekintu kyonna kyazudde ekikontana n’enjigiriza y’Eklezia tewali Faaza yenna akkirizibwa kusomera mmisa mu maka ag’engeri eno omuli n’essabo.

Yagasseko nti Klezia tesobola kwesiba ku muntu atagiriko yadde buvunaanyizibwa bwayo okulyowa emyoyo n’okulangirira ekigambo kya Katonda era nasaba buli omu okusabira Kato mu ngeri ye eby’okumulamula babirekere Katonda.

Kato Lubwama azze akyogera lunwe nti ye musamize era abadde talina Klezia gyagendamu naddala ezo ezimuliraanye okuli eye Mutundwe, Bunnamwaya ne Lubaga nga kino kyakakasiddwa abakulembeze ab’enjawulo Bukedde be yayogeddeko nabo.

Omubaka Gonzaga Ssewungu eyabadde omuweereza mu mmisa eyazaalidde Fr. Galiwango ebizibu yategeezezza nti Klezia esobola okuddiramu omuntu era okusoma mmisa eno kabonero akalaga nti Kato Lubwama Klezia yamudiddemu ku lwa famire ye.

Matovu yagambye nti ku Lwokubiri Kato Lubwama waakusomerwa mmisa Klezia ya Matia Mulumba ku Old Kampala olw’ensonga nti eno agirinako akakwate olw’omukululo kitaawe omugenzi Matia Lubwama ne maama we gwe baalekayo.

Olumbe lwetabiddwamu abakulembeze ab’enjawulo okwabadde Minisita JC Muyingo, omumyuka wa Katikkiro wa Buganda asooka, Hajji Twaha Kawaase, minisita Henry Ssekabembe Kiberu, minisita Haruna Kyeyune Kasolo, Amos Lugolobi, ababaka Oshabe Nsamba, Kakooza, Godfrery Saazi, David Sserukenya, Kintu Brandon, Cissy Namujju, Kawalya Abubaker, Aloysius Mukasa, David Kalwanga n’abantu abalala bangi.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});