BYA LAWRENCE MUKASA.
OMUKULU w'ekika ky'enjovu omutaka David Silverster Sessanga ayozayozezza Ssaabasajja kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 olw'okutuuka ku matikkira aga 28 ssaako n'okulamula obulungi Obuganda n’okukulakulanya abantu ba Buganda.
Mukalo ategezeza nti mu myaka 28 Kabaka ayagazisiza nnyo abavubuka ba Buganda ebika byabwe n’okukola pulojekiti ezikulaakulya obuganda.
Bino Omutaka Mukalo abyogeredde kwo'fiisi y'ekika kino e Lubya bwabadde asisikanye abataka benyiriRI okuteesa ku ntambuza y'emirimu wakati mu kiseera eky'okusomozebwa olw'ekilwadde kya covid 19.
Omutaka Ssesanga agasSeeko nti kaweefube akoleddwa kabaka Mutebi ow'okulakulanya obwakabaka atadde buganda ku ntiko era nasaba omutonzi ayaongere okumukuuma nokumuvuunusa emisanvu gyonna gyasanga mubuwereeza bwe nga alamula obuganda.
Njo 2
Ono era yakwasiza mu butongole omutaka Masimbi Muhammed Yusuf obuvunanyizibwa obw'okuzimba ekigango eky'ekika kino ekiri mukuzimbibwa kuttaka lyekika kino e Kambugu mu Busiro era nasiima Eng Patrick Ssekimpi olwokukulemberamu omulimu gunno.
Alambuludde ku zimu ku nkukakyuka ezikoledwa mu kika okwongera okutuusa obuwereza eri abazukulu bwatyo nakutira abataka okujumbila okutuuza ekiiko saako nokuwandiisa abazzukulu bonna mu kitabo kyekika nga bagendera ku kusaba kwa Ssabasajja kweyasaba okwokuwandiisa abazzukulu bonna mubika byabwe.
Omutaka Masimbi eyakwasiddwa obuvunanyizibwa bwokukuliramu enteekateeka zokuzimba ekigangu kyekika yebaziza obukulembeze obuvudeko olwokulwanirira enkulakulana mu kika kyenjovu nasubiza okukolera ewamu okwongerayo enkukulakulana y’ekika.