Bya SAUL WOKULIRA
IVAN Kibuule owa Midland High School Buntaba Mukono yafunye 10 era ayagala Bwadokita.
Kibuule agamba nti okufuna ssente za fiizi abadde ayokya amanda ng' ayambibwako ne ssomero kubanga bazadde be bali mu kyalo e Nakaseke tebalina ssente. Agamba nti ekirooto kya kyakufuuka dokita ajjanjabe abantu.
Kibuule agamba nti mu biseera by'okusoma abadde ateekako abapakasi ne bamuyambako okulabirira ebyokero era nga bw'amala okugatunda awo n'alyoka abasasula.
Omukulu wessomero, Enock Kyambadde yagambye nti abaana bonna baayitidde mu ddaala erisooka era n'asiima Kibuule olw'amaanyi geyataddemu.