Bannansi ba Turkey badduukiridde amasomero ga Gavt. n’ebikozesebwa

May 08, 2025

BANNANSI okuva e Turkey badduukiridde amasomero ga Gavumenti agasoba mumukaaga e Mukono agali ku nkola ya UMEA, bwe babawadde ebikozesebwa mu kusoma mu kaweefube w’okuyambako Uganda okusitula ebyenjigirizabyayo n’embeera z’abantu.

NewVision Reporter
@NewVision

BANNANSI okuva e Turkey badduukiridde amasomero ga Gavumenti agasoba mu
mukaaga e Mukono agali ku nkola ya UMEA, bwe babawadde ebikozesebwa mu kusoma mu kaweefube w’okuyambako Uganda okusitula ebyenjigiriza
byayo n’embeera z’abantu.
Omukwanaganya wa TURUGA Foundation, Idd Ssembatya,  mwe bayita okudduukirira
Bannayuganda, yagambye nti enteekateeka eno eri mu masomero ga Gavumenti gokka
agali wansi wa UMEA oluvannyuma  lw’okukizuula nti abazadde bangi basindika abayizi okusoma kyokka nga tebalina bikozesebwa bimala, nga baagala okulaba nti omutindo gw’amasomero ga UMEA gweyongerako okulinnya  mu by’ensoma.
Baabagulidde ebitabo bya mwaka mulamba, ekkalaamu, ensawo z’ebitabo, sseeti
n’eccupa mwe banywera amazzi.
Bano era baagabidde abatuuze ku byalo okuli; Kabembe, Kiyunga n’ebiriraanyeewo emmere omuli; akawunga, omuceere,  ssukaali ne ssente enkalu
50,000/- buli omu.
Baabibakwasirizza ku ssomero lya Kiyunga UMEA Islamic P/S, abayizi n’abazadde gye bakung’aanidde.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});