Abajaasi ba UPDF 2 basimattuse okufiira mu kabenje k’eggaali y’omukka e Kireka
Sep 16, 2021
AKABENJE kaaguddewo enkya ya leero ku luguudo oludda ewa Ssaabasajja Kabaka nga kigambibwa nti kavudde ku kabangali y’amaggye ebadde ewerekera omukulu mu magye atategeerekese okutomera owa boda abadde aweese omukyala okukkakkana nga omukyala afiiriddewo.

NewVision Reporter
@NewVision
Abajaasi ababadde mu mmotoka eno bwe balabye nga guli gutyo ne bassaako kakokola tondekanyuma kyokka abagoba ba bbooda ne babasimbako.
Eggaali y'omukka eyakoze akabenje
Ddereeva waayo alabye guli gutyo kwe kwagala atemere ku ky’ewa Kabaka gy’asangidde eggaali y’omukka etwala abasabaaze mu kibuga Kampala okukola n’agitomera okukkakkana nga ddereeva wa kabbangali ne munne balemeddeyo mu kyana ky’eggaali y’omukka.
Aba Red Cross n'abalala nga bakola butaweera okuggyayo abajaasi
Embeera eno etwalidde ddala essaawa ezikulungudde mu 6 nga abatuuze bakola butaweera okutaasa abajaasi bano era bakozesezza mbazzi okubatemayo.
Poliisi ereese kasiringi yaayo ebinule ekyana ky’eggaali y’omukka. Banno babadde bayambibwaako ab’ekitongole kya Red Cross oluvanyuma abeegatiddwaako abamaggye aba Red Tops, LDU ne poliisi okulaba nga batakiriiza obulamu bwabwe.
Aba red cross banno balabiddwako nga bateeka amazzi ku bajaasi baleme kuggwaamu maanyi era olubaggyeeyo ne babaddusa mu ddwaaliro okujjanjabibwa ng’embeera mbi.
Mmeeya wa Kira Julius Mutebi ategeezezza nti kisannye abagoba b’emmotoka za bakungu okuvuga n’obwegendereeza. Ono era asabye ab’ekitongole kya Uganda Railways okussa obupande obumala ku nguudo awayita eggaali y’omukka.
Mu ngeri yemu yeebazizza abantu olw’okukolaganira awamu n’abeebyokwerinda. Abadduukirize bategeezezza nti ekifo kino kisuse okuba akattiro era ne bavumiliira n’abagoba b’emmotoka z’abakungu okuvugisanga ekimama.
Era nga banno balabiddwako nga bagobagana n’abeebyokwerinda ng’abamu ku bo baagala okubaako bye basitukiramu.
Amyuka omwogezi wa poliisi Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire akakasiza akabenje kano n’ategeeza nti abakoseddwa batwaliddwa mu malwaliro okufuna obujjanjabi.
No Comment