Okwawukanako n’ebika by’eddagala ebirala okuli; AstraZeneca, Sinovac, Moderna Pfizer n’ebirala, omuntu kimwetaagisa okugemebwa emirundi ebiri mu bbanga eggere okumalayo ddoozi, Johnson and Johnson ofuna empiso emu yokka ddoozi n’eggwaayo,eno y’ensonga lwaki bannayuganda bangi babadde balyesunga.
Si 3
“Singa Gavumenti en’etuusa ekiseera ky’okugema abantu ne eddagala lya Johnson and Johnson abasinga lye beesunga, lyakuweebwa abo bokka abakola emirimu egibakweka nga balwawo okulabika okugeza; abalunzi abatambula n’ensolo zaabwe okwetoloola eggwanga(Pastoralists), abavubi, abavuga biirukululana n’abalala abagwa mu kkowe eryo,” Kyabayinze bwe yakakasizza.
Dr. Misaki Weyengera akulira akakiiko akeebuuzibwako ku kulwanyisa okusaasaana kwa Corona mu ggwanga yalabudde bannayuganda ku mbeera y’okugattika ebika by’eddagala nti abakikola banditeeka obulamu bwabwe mu matigga kuba teri kunoonyereza kukakasa ku biyinza kuva mu mbeera eno.
Gavumenti yatumya ddoozi za Johnson and Johnson obukadde 9 wabula mu kiseera kino waakafunikako emitwalo 657,600 wabula December bw’anatuukira nga ziweddeyo zonna