Abantu abasoba mu 7,000 be bagemeddwa Covid 19 e Mmengo

Nov 07, 2021

ABANTU 75,603 be bagemeddwa obulwadde bwa Covid -19 mu nnaku ebbiri mu nteekateeka eyakoleddwa Obwakabaka bwa Buganda ne Bannamikago baabwo abaakulembeddwamu Vision Group efulumya Bukedde, Uganda Breweries, KCCA, PSFU, Coca-Cola, Safe boda n'abalal

By Dickson Kulumba
Journalist @New Vision

Bya Dickson Kulumba

ABANTU 75,603 be bagemeddwa obulwadde bwa Covid -19 mu nnaku ebbiri mu nteekateeka eyakoleddwa Obwakabaka bwa Buganda ne Bannamikago baabwo abaakulembeddwamu Vision Group efulumya Bukedde, Uganda Breweries, KCCA, PSFU, Coca-Cola, Safe boda n'abalala.

Okugema kuno kwatandise eggulo nga kukomekkerezeddwa leero ku mbuga enkulu ey'Obwakabaka bwa Buganda e Bulange- Mmengo.

Ng'aggalawo enteekateeka eno olw'eggulo lwa Leero, Omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda, Polof Twaha Kaawaase Kigongo yeewuunyizza okuba nga waliwo abantu bangi abakyagugubye okutegeera obukulu bw’okwegemesa Covid - 19 nga muno mulimu n’ababaka ba Palamenti.

Polof. Kaawaase era asabye gavumenti eya wakati esinziire ku kifaananyi kino ekigiragiddwa abantu ekkirize enkola ya FEDERO esobozesa ebitundu okwekolera ku nsonga ezimu ng'ebyobulamu ebisookerwako.

 

Dr. Richard Kabanda nga Kamisona avunaanyizibwa ku kubunyisa amawulire mu Minisitule y'ebyobulamu mu ggwanga, yeebazizza Obwakabaka okuvaayo okukwatizaako gavumenti okutumbula ebyobulamu.

Jackie Tahakanazibwa Kwesiga ategeezezza nga wamu ne Bannamikago bwe bali mu nteekateeka eno, bwe bagenda okwongerayo wiiki nga bagema abantu kubanga baagala eggwanga liggyibwe ku muggalo, Bannayuganda baddemu okweyagalira obulungi mu bulamu bwe baalimu nga Covid- 19 tanajja.

Ye Omukungu Ronald Kawaddwa akulira ekitongole ky'Obwakabaka ekya Majestic Brands ekivunaanyizibwa ku kutumbula ekifaananyi ky'Obwakabaka, yeebazizza abantu olw'okuwulira eddoboozi ly'Obwakabaka ne bajja okwegemesa n'abasaba emirundi gyonna gyebanaabakunga okujja okugemebwa,bajje mu bungi.

Omukolo gwetabiddwaako ne Dayirekita w'ebyobulamu mu KCCA, Dr. Okello Ayen ne Dr. Fredrick Mutyaba ng'ono ye Ssentebe wa bboodi y'ebyobulamu mu Buganda n'abakungu abalala.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});