RDC we Kayunga alabudde abatunda Card za COVID-19
Feb 05, 2022
RDC wa Kayunga Amos Ssempala Kigozi alidde mu ttama n'alabula abasawo abagufudde omugano okutunda kaadi eziraga abagemeddwa COVID 19 wabula nga baziguza atagemeddwa nti gwe banaakwatako kanamujjutuka.
By Saul Wokulira
Journalist @New Vision
RDC wa Kayunga Amos Ssempala Kigozi alidde mu ttama n'alabula abasawo abagufudde omugano okutunda kaadi eziraga abagemeddwa COVID 19 wabula nga baziguza atagemeddwa nti gwe banaakwatako kanamujjutuka.
RDC Ssempala Kigozi agambye nti omusawo atunze kaadi n'omuntu agiguze bonna bwe banaakwatibwa baakubunaanibwa kyenkanyi.
Agambye nti waliwo abantu abagaana okugemebwa nga beekwasa ensonga ezitali zimu ne basalawo okugenda mu malwaliro okugula kaadi ate abalala baazijingirira wamu anaabagwa mu ttaano wakuvunaanibwa.
RDC Kigozi agambye nti amaze okusuula enkessi mu malwaliro n'ebifo ebigemerwamu okulaba nga bakwata abeenyigira mu bulabbayi buno.
Kaadi ezo abasawo bazitunda wakati wa 25,000/- ne 60,000/- okusinziira agula bw'amatizza oyo asobola okugimufunira.
Yeweze okukwata abazigula n'abazitunda.
No Comment