Minisita Anifa Kawooya atabukidde abantu abatafa ku mateeka ga COVID
Oct 29, 2021
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku guno naguli mu Minisitule y'eby'obulamu, Hanifa Kawooya alidde mu ttama n'alabula Bannayuganda abaamala okwegemesa ekirwadde kya Covid-19 kyokka ne batafaayo kukuuma mateeka agassibwawo minisitule okutangira okusaasaana kwa Covid-19.
By Hanipher Namuwonge
Journalist @New Vision
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku guno naguli mu Minisitule y'eby'obulamu, Hanifa Kawooya alidde mu ttama n'alabula Bannayuganda abaamala okwegemesa ekirwadde kya Covid-19 kyokka ne batafaayo kukuuma mateeka agassibwawo minisitule okutangira okusaasaana kwa Covid-19.
Qe 5
Okuva mu mbeera minisita Hanifah Kawooya abadde agenze Luzira okutongoza okugema Covid-19 okuwomeddwamu omutwe Gavumenti ya Ireland mu kaweefube w'okukwasizaako Gavumenti ya Uganda okulwanyisa okusaasaana kwa Covid-19 atadde ensi yonna ku bunkenke.
Minisita Hanifah Kawooya atabukidde abantu ababadde bambadde obubi Masiki n'ategeeza omuntu okwegemesa tekitegeeza butafaayo kwekuuma n'alabula abantu okuva mu kusaaga beekume ekirwadde kya Covid-19 era nga wano asiimye Gavumenti ya Ireland olw'eddagala lya Astrazenac lye baaweereza Uganda.
Qe 5
Omukolo guno gwetabiddwako Minisita wa Ireland avunaanyizibwa ku nsonga z'Amawanga amalala Colm Brophy nga wano Omubaka wa Pulezidenti e Nakawa Mac Baingana yasookedde ddala okwegemesa n'akunga abantu bonna okwettanira okwegemesa.
Ye Omubaka wa Nakawa East Eng.Ronald Balimwezo asinziddde ku mukolo guno n'aloopera Minisitule y'eby'obulamu abantu abatandise okukyupula Kaadi eziweebwa abantu abagemeddwa Covid-19 n'ategeeza nti kino kya bulabe nnyo eri eggwanga n'abantu Ssekinoomu
No Comment