Abadde heedimaasita wa Kings College Buddo aziikiddwa
Nov 12, 2021
ABADDE heedimaasita wa Kings College Buddo aziikiddwa bannadiini ne bakalaatira omusika we okwewala omulugube n’okunywerera mu diini nga kitaawe.

NewVision Reporter
@NewVision
Patrick Bakka Male 60, aziikiddwa ku kyalo Luwunga mu ggombolola y’e Kituntu mu Mpigi ne balaga omusika we Peter Kawuma.
Omulabirizi wa West Buganda, Katumba Tamale y’akulembeddemu okubuulira ku kuziika. Avumirdde omululu n’omulugube ogususse mu bantu naddala abayivu n’asaba abantu okulabira ku mugenzi babeere bamativu ne kye balina baleme kululunkanira ebintu n’ebifo eby’awaggulu.
Bannaddiini mu kusabira omugenzi
Omulabirizi wa Central Buganda eyawummula, Bishop Jackson Matovu bw’abadde asabira omusika Pater Kawuma amukuutidde okubeera omuvumu era omukozi ennyo nga kitaawe akuume erinnya lya ffamire nga lya kitiibwa.
Okuziika nga bwe kwabadde
Mu bubaka bwa minisita w’ebyenjigiriza Janet Kataaha Museveni bw’atisse DEO wa Wakiso Fredrick Kinobe, atenderezza nnyo omugenzi omulimu gwe yakola mu masomero gonna ge yakulirako naddala erya Mutuyera eryalimu obwegugungo n’abumalawo.
Omugenzi Male
No Comment